Olubereberye 46
46
1 #
Lub 26:23-25
Isiraeri n'atambula ng'atwala byonna bye yalina, n'ajja e Beeruseba, n'awaayo saddaaka eri Katonda wa kitaawe Isaaka. 2#Lub 15:1, Yob 33:14,15Katonda n'ayogera ne Isiraeri mu kwolesebwa okw'ekiro, nti Yakobo, Yakobo. N'ayogera nti Nze nzuuno. 3#Lub 12:2; 28:13, Ma 26:5N'ayogera nti Nze Katonda, Katonda wa kitaawo: totya kuserengeta mu Misiri; kubanga ndikufuulira eyo eggwanga eddene: 4#Lub 28:15; 50:24, Kuv 3:8ndiserengeta naawe mu Misiri; era sirirema kukuggyamu nate: era Yusufu aliteeka engalo ze ku maaso go. 5#Lub 45:27Yakobo n'agolokoka n'ava mu Beeruseba: abaana ba Isiraeri ne basitulira Yakobo kitaabwe, n'abaana baabwe abato n'abakazi baabwe, mu magaali Falaawo ge yaweereza okumusitula. 6#Yos 24:4, Zab 105:23, Is 52:4, Bik 7:15Ne batwala ensolo zaabwe n'ebintu byabwe bye baafuna mu nsi ya Kanani, ne bajja mu Misiri, Yakobo n'ezzadde lye lyonna awamu naye: 7batabani be n'abaana ba batabani be wamu naye, bawala be n'abawala ba batabani be, n'ezzadde lye lyonna be yatwala naye bwe yagenda mu Misiri.
8 #
Kubal 26:5,6, 1 Byom 5:1-3 #
Kuv 1:1-5; 6:14-16, Kubal 26:5,6, 1 Byom 5:1-3 N'amannya g'abaana ba Isiraeri, abajja mu Misiri, Yakobo ne batabani be, ge gano: Lewubeeni, omubereberye wa Yakobo. 9Ne batabani ba Lewubeeni: Kanoki, ne Palu, ne Kezulooni, ne Kalumi. 10#Kubal 26:12,13, 1 Byom 4:24N'abaana ba Simyoni abasajja; Yemweri, ne Yamini, ne Okadi, ne Yakini, ne Zokali, ne Sawuli omwana w'omukazi Omukanani. 11#Kubal 26:57, 1 Byom 6:1Ne batabani ba Leevi; Gerusoni, Kokasi, ne Merali. 12#Lub 38:7,10, 1 Byom 4:24Ne batabani ba Yuda; Eri, ne Onani, ne Seera, ne Pereezi, ne Zeera: naye Eri ne Onani baafiira mu nsi ya Kanani. Ne batabani ba Pereezi baali Kezulooni ne Kamuli. 13#1 Byom 7:1Ne batabani ba Isakaali; Tola, ne Puva, ne Yobu, ne Simulooni. 14#Kubal 26:26Ne batabani ba Zebbulooni; Seredi, ne Eroni, ne Yaleeri. 15#Lub 29:32-35; 30:17-21Abo be batabani ba Leeya, be yazaalira Yakobo mu Padanalaamu, awamu n'omuwala we Dina: abaana be bonna abasajja n'abakazi baali obulamu asatu mu busatu. 16#Kubal 26:15-17Ne batabani ba Gaadi; Zifiyooni, ne Kagi, Suni, ne Ezeboni, Eri, ne Alodi, ne Aleri. 17#Kubal 26:44-46, 1 Byom 7:30,31Ne batabani ba Aseri; Imuna, ne Isuva, ne Isuvi, ne Beriya, ne Seera mwannyinaabwe: ne batabani ba Beriya; Keberi, ne Malukiyeeri. 18#Lub 29:24; 30:10-13Abo be batabani ba Zirupa, Labbaani gwe yawa Leeya omwana we, era abo be yazaalira Yakobo, bwe bulamu ekkumi n'omukaaga. 19Batabani ba Laakeeri mukazi wa Yakobo; Yusufu ne Benyamini. 20#Lub 41:50-52Era Yusufu n'azaalirwa mu nsi y'e Misiri Manase ne Efulayimu, Asenaasi omwana wa Potiferi kabona ow'e Oni be yamuzaalira. 21#Kubal 26:38-40Ne batabani ba Benyamini; Bera, ne Bekeri, ne Asuberi, ne Gera, ne Naamani, Eki, ne Losi, Mupimu, ne Kupimu, ne Aludi. 22Abo be batabani ba Laakeeri, abaazaalirwa Yakobo: obulamu bwonna bwali kkumi na buna. 23#Lub 35:25Ne batabani ba Ddaani; Kusimu. 24#Lub 30:7, 1 Byom 7:13Ne batabani ba Nafutaali; Yazeeri, ne Guni, ne Yezeri, ne Siremu. 25#Lub 29:29; 30:5-8Abo be batabani ba Bira, Labbaani gwe yawa Laakeeri omwana we, era abo be yazaalira Yakobo: obulamu bwonna bwali musanvu. 26Obulamu bwonna obwayingira mu Misiri awamu ne Yakobo, obwava mu ntumbwe ze, obutassaako bakazi b'abaana ba Yakobo, obulamu bwonna bwali nkaaga mu mukaaga; 27#Kuv 1:5, Ma 10:22, Bik 7:14ne batabani ba Yusufu, abaamuzaalirwa mu Misiri, baali bulamu bubiri: obulamu bwonna obw'ennyumba ya Yakobo, obwayingira mu Misiri, bwali nsanvu.
28N'atuma Yuda okumukulembera eri Yusufu, okulaga ekkubo mu maaso ge erigenda mu Goseni; ne batuuka mu nsi y'e Goseni. 29Yusufu n'ateekateeka eggaali lye, n'ayambuka okusisinkana Isiraeri kitaawe, mu Goseni; ne yeeraga gy'ali, n'amugwa mu bulago, n'akaaba amaziga mu bulago bwe ekiseera ekinene. 30#Luk 2:29,30Isiraeri n'agamba Yusufu nti Kaakano ka nfe, kubanga ndabye amaaso go, ng'okyali mulamu. 31Yusufu n'agamba baganda be n'ennyumba ya kitaawe nti N'ayambuka ne mbuulira Falaawo ne mmugamba nti Baganda bange n'ennyumba ya kitange, abaali mu nsi Kanani, bazze ewange: 32era abasajja be basumba, kubanga baalundanga nte; era baleese endiga zaabwe n'ente zaabwe ne byonna bye balina. 33Awo olulituuka Falaawo bw'alibayita bw'alyogera nti Emirimu gyammwe ki? 34#Lub 37:12; 43:32, Kuv 8:26Mwogeranga nti Abaddu bo baalundanga nte okuva mu buto bwaffe okutuusa leero, ffe era ne bajjajja baffe: mulyoke mutuule mu nsi y'e Goseni: kubanga buli musumba kya muzizo eri Abamisiri.
Currently Selected:
Olubereberye 46: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.