YouVersion Logo
Search Icon

Olubereberye 44

44
1 # Lub 42:24 N'alagira omuwanika w'ennyumba ye, ng'ayogera nti Jjuza ensawo ez'abasajja emmere, nga bwe bayinza okwetikka, era teeka effeeza eya buli muntu mu kamwa k'ensawo ye. 2Era teeka ekikompe kyange, ekikompe ekya ffeeza, mu kamwa k'ensawo ey'omuto, n'effeeza ye ey'eŋŋaano. N'akola ng'ekigambo bwe kibadde Yusufu ky'ayogedde. 3Awo bwe bwakya enkya, abasajja ne basiibulwa, bo n'endogoyi zaabwe. 4Bwe baamala okuva mu kibuga, nga bakyali kumpimpi, Yusufu n'agamba omuwanika we nti Golokoka, ogoberere abasajja; bw'onoobatuukako, bagambe nti Kiki ekibawalanyizza ebibi olw'obulungi? 5Kino si kye kiikyo mukama wange ky'anywesa, era n'okulagula ky'alaguza? mwakoze bubi bwe mwakoze bwe mutyo. 6N'abatuukako, n'abagamba ebigambo ebyo. 7Ne bamugamba nti Kiki ekyogezezza mukama wange ebigambo ebiriŋŋanga ebyo? Kitalo abaddu bo okukola ekigambo ekyenkanidde awo. 8#Lub 43:21Laba, effeeza gye twalaba mu bumwa bw'ensawo zaffe, twagizza gy'oli okuva mu nsi ya Kanani: kale twandibbye tutya effeeza oba zaabu mu nnyumba ya mukama wo? 9#Lub 31:32Buli anaalabika ku baddu bo ng'ali nakyo, afe, era naffe tunaaba abaddu ba mukama wange. 10N'ayogera nti Kale nno kaakano kibe ng'ebigambo byammwe bwe biri: anaalabika ng'ali nakyo ye anaaba omuddu wange; nammwe temuubeeko musango. 11Awo ne banguwa, ne beetikkula buli muntu ensawo ye, ne bazissa wansi, buli omu n'asumulula ensawo ye. 12N'anoonya, ng'asookera ku mubereberye n'amalira ku muto: ekikompe ne kirabikira mu nsawo ya Benyamini. 13#Lub 37:29,34Ne balyoka bayuza engoye zaabwe, ne bateeka ebintu buli muntu ku ndogoyi ye, ne baddayo mu kibuga. 14#Lub 42:6 Yuda ne baganda be ne batuuka mu nnyumba ya Yusufu; ne bamusanga ng'akyaliyo: ne bavuunama mu maaso ge. 15Yusufu n'abagamba nti Kikolwa ki kino kye mukoze? temumanyi nti omusajja eyenkana nange obukulu ayinza okulagulira ddala? 16#Lub 37:18; 44:9, Kubal 32:23Yuda n'ayogera nti Tunaagamba tutya mukama wange? tunaayogera tutya? oba tunaawoza tutya? Katonda akebedde obutali butuukirivu bw'abaddu bo: laba, tuli baddu ba mukama wange, ffe era n'oyo alabise ng'alina ekikompe mu mukono gwe. 17N'ayogera nti Kitalo nze okukola bwe ntyo: omusajja alabise ng'alina ekikompe mu mukono gwe ye anaaba omuddu wange; naye mmwe, mwambuke mugende eri kitammwe n'emirembe.
18 # Lub 41:40 Yuda n'alyoka amusemberera n'ayogera nti Ai mukama wange nkwegayiridde, omuddu wo ayogere ekigambo mu matu ga mukama wange, so obusungu bwo buleme okubuubuukira omuddu wo: kubanga oliŋŋanga Falaawo ddala. 19Mukama wange yabuuza abaddu be ng'ayogera nti Mulina kitammwe, oba muganda wammwe? 20Naffe ne tugamba mukama wange nti Tulina kitaffe, mukadde, n'omwana gwe yazaala ng'akaddiye, omwana omuto; ne muganda we yafa, naye asigaddewo yekka ku baana ba nnyina, era kitaawe amwagala. 21#Lub 42:14,20Naawe n'ogamba abaddu bo nti mumundeetere, mmukubeko amaaso. 22Ne tugamba mukama wange nti Omulenzi tayinza kuleka kitaawe: kuba bw'alireka kitaawe, kitaawe alifa. 23#Lub 43:3,5N'ogamba abaddu bo nti Mwana wa bommwe bw'ataliserengeta nammwe, temuliraba nate maaso gange. 24Awo olwatuuka bwe twayambuka ne tujja eri omuddu wo kitange, ne tumubuulira ebigambo bya mukama wange. 25#Lub 43:2Kitaffe n'ayogera nti Muddeeyo nate, mutugulire akamere. 26Naffe ne twogera nti Tetuyinza kuserengeta: omwana wa boffe bw'anaabeera awamu naffe, tuliserengeta: kubanga tetuyinza kulaba maaso ga musajja, omwana wa boffe wabula ng'ali wamu naffe. 27#Lub 46:19Omuddu wo kitange n'atugamba nti Mumanyi nti mukazi wange yanzaalira abaana ab'obulenzi babiri: 28#Lub 37:33 omu n'ava gye ndi, ne njogera nti Mazima yataagulwataagulwa; nange sikyamulabako: 29#Lub 42:36,38era bwe munanziyako n'oyo, akabi ne kamubaako, muliserengesa envi zange mu magombe olw'okunakuwala. 30Kale kaakano bwe ndijja eri omuddu wo kitange, n'omulenzi nga tali wamu naffe; kubanga obulamu bwe busibiddwa n'obulamu bw'omulenzi; 31olulituuka bw'aliraba ng'omulenzi taliiwo, alifa: n'abaddu bo baliserengesa envi z'omuddu wo kitaabwe mu magombe olw'okunakuwala. 32#Lub 43:9Kubanga omuddu wo ye yeeyimirira omulenzi eri kitange nga njogera nti Bwe sirimuleeta gy'oli, nze ndiba n'omusango eri kitange ennaku zonna. 33Kale nno, nkwegayiridde, omuddu wo abeere wano mu kifo ky'omulenzi okuba omuddu wa mukama wange; n'omulenzi ayambukire wamu ne baganda be. 34Kubanga ndyambuka ntya eri kitange, n'omulenzi nga tali wamu nange? nneme okulaba akabi akalituuka ku kitange.

Currently Selected:

Olubereberye 44: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy