1
Olubereberye 45:5
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
Ne kaakano temunakuwala, so temwesunguwalira, kubanga mwantunda muno: kubanga Katonda ye yankulembeza mmwe okuwonya mu kufa.
Compare
Explore Olubereberye 45:5
2
Olubereberye 45:8
Kale nno si mmwe mwansindika muno, wabula Katonda: era yanfuula kitaawe wa Falaawo, era omwami w'ennyumba ye yonna era omukulu afuga ensi yonna ey'e Misiri.
Explore Olubereberye 45:8
3
Olubereberye 45:7
Era Katonda ye yankulembeza mmwe okubawonyeza abalisigala ku mmwe mu nsi, n'okubalokola muleme okufa mu kuwonya okw'ekitalo.
Explore Olubereberye 45:7
4
Olubereberye 45:4
Yusufu n'agamba baganda be nti Munsemberere, mbeegayiridde. Ne basembera. N'ayogera nti Nze Yusufu muganda wammwe, gwe mwatunda e Misiri.
Explore Olubereberye 45:4
5
Olubereberye 45:6
Enjala yaakamaze mu nsi emyaka ebiri: era ekyasigaddeyo etaano, gye batagenda kulimiramu newakubadde okukungula.
Explore Olubereberye 45:6
6
Olubereberye 45:3
Yusufu n'agamba baganda be nti Nze Yusufu; kitange akyali mulamu? Baganda be ne batayinza kumuddamu; kubanga beeraliikirira mu maaso ge.
Explore Olubereberye 45:3