YouVersion Logo
Search Icon

Olubereberye 39

39
1 # Lub 37:25,28,36 Yusufu ne bamuserengesa mu Misiri; Potifali, omwami wa Falaawo, omukulu w'abambowa, Omumisiri, n'amugula mu mukono gw'Abaisimaeri, abaamuserengesa eyo. 2#Lub 21:22; 28:15, 1 Sam 16:18; 18:14, Bik 7:9Mukama n'aba wamu ne Yusufu, n'aba n'omukisa; n'abeera mu nnyumba ya mukama we Omumisiri. 3#2 Byom 26:5, Zab 1:3Mukama we n'alaba nga Mukama ali naye, era nga Mukama amuwa buli kye yakola okuba n'omukisa mu mukono gwe. 4Yusufu n'alaba ekisa mu maaso ge, n'amuweereza: n'amufuula omulabirizi w'ennyumba ye, ne bye yali nabyo byonna n'abiteeka mu mukono gwe. 5#Lub 30:27Awo olwatuuka bwe yamala okumufuula omulabirizi w'ennyumba ye, era owa byonna bye yalina, Mukama n'alyoka agiwa ennyumba ey'Omumisiri omukisa ku bwa Yusufu: omukisa gwa Mukama ne guba ku byonna bye yalina, eby'omu nnyumba n'eby'omu nnimiro. 6#1 Sam 16:12N'aleka byonna bye yalina mu mukono gwa Yusufu; n'atamanya kintu ekyali naye wabula emmere gye yalyanga. Era Yusufu yali mulungi, n'amaaso ge ga kusanyusa. 7Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo, omukazi wa mukama we n'atunuulira Yusufu; n'ayogera nti Sula nange. 8#Lub 39:4Naye n'agaana, n'agamba omukazi wa mukama we nti Laba, mukama wange tamanyi ebiri nange mu nnyumba, era yateeka byonna by'alina mu mukono gwange; 9#2 Sam 12:13, Zab 51:4tewali ansinga nze obukulu mu nnyumba muno; so teyasigaza kintu obutakimpa nze wabula ggwe, kubanga oli mukazi we: kale nnyinza ntya okwonoona, okwenkanidde wano, n'okusobya ku Katonda? 10Awo olwatuuka bwe yayogera ne Yusufu buli lunaku, n'atamuwuliranga, okusula naye, oba kubeera naye. 11Awo olwatuuka mu biro ebyo n'ayingira mu nnyumba okukola emirimu gye; so nga siwali basajja ba mu nnyumba muli munda. 12#Nge 7:13,18N'amukwatako ekyambalo kye ng'ayogera nti Sula nange: n'aleka ekyambalo kye mu mukono gwe, n'adduka n'avaayo. 13Awo olwatuuka, bwe yalaba ng'alese ekyambalo kye mu mukono gwe n'adduka n'avaayo, 14n'alyoka ayita abasajja ab'omu nnyumba ye, n'abagamba nti Laba, yayingiza Omwebbulaniya okutuduulira; ayingidde gye ndi okusula nange, ne nkoowoola n'eddoboozi ddene: 15awo olwatuuse, bw'awulidde nga nnyimusa eddoboozi lyange ne nkoowoola, n'alyoka aleka ekyambalo kye gye ndi n'adduka n'avaayo. 16N'atereka ekyambalo kye ewuwe, okutuusa mukama we bwe yakomawo eka. 17N'amugamba ng'ebigambo bino bwe biri nti Omuddu Omwebbulaniya gwe watuleetera yayingira gye ndi okunduulira: 18awo olwatuuka, bwe nnayimusa eddoboozi lyange ne nkoowoola, n'alyoka aleka ekyambalo kye gye ndi, n'adduka n'avaayo. 19Awo olwatuuka, mukama we bwe yawulira ebigambo bya mukazi we bye yamugamba nti Bw'atyo omuddu wo bwe yankolera; obusungu bwe ne bubuubuuka. 20#Lub 40:3,5; 41:14, Zab 105:18Mukama wa Yusufu n'amutwala n'amussa mu kkomera, ekifo abasibe ba kabaka mwe baasibirwa: n'abeera omwo mu kkomera. 21#Lub 39:2,4, Kuv 3:21; 11:3; 12:36, Zab 106:46, Dan 1:9, Bik 7:10Naye Mukama n'aba wamu ne Yusufu, n'amulaga ebirungi, n'amuwa ekisa mu maaso g'omukuumi w'ekkomera. 22#Lub 40:4Omukuumi w'ekkomera n'ateresa Yusufu mu mukono gwe abasibe bonna abaali mu kkomera; ne byonna bye baakola eyo, oyo ye yabikola. 23#Lub 39:2,3Omukuumi w'ekkomera teyatunuulira kintu ekyali wansi w'omukono gwe, kubanga Mukama yali wamu naye; n'ebyo bye yakola, Mukama n'abiwa omukisa.

Currently Selected:

Olubereberye 39: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy