YouVersion Logo
Search Icon

Olubereberye 38

38
1 # Lub 19:3, 2 Bassek 4:8 Awo olwatuuka mu biro ebyo Yuda n'ava mu baganda be n'aserengeta, n'ayingira mu nnyumba ey'omu Adulamu, erinnya lye Kira. 2#Lub 46:12, 1 Byom 2:3Yuda n'alabayo omukazi omwana w'Omukanani erinnya lye Suwa; n'amutwala, n'ayingira gy'ali. 3N'aba olubuto, n'azaala omwana ow'obulenzi; Yuda n'amutuuma erinnya Eri. 4N'aba olubuto nate, n'azaala omwana ow'obulenzi; n'amutuuma erinnya Onani. 5Era nate n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya Seera: ne Yuda yali mu Kezibi, bwe yamuzaala. 6Yuda n'awasiza Eri omwana we omubereberye omukazi erinnya lye Tamali. 7Ne Eri, omubereberye wa Yuda, yali mubi mu maaso ga Mukama; Mukama n'amutta. 8#Ma 25:5,6, Mak 12:19 Yuda n'agamba Onani nti Yingira eri omukazi wa muganda wo, omuwase nga bwe kigwanira muganda wa bba, oddizeewo muganda wo ezzadde. 9Onani n'ategeera ng'ezzadde teririba lirye; awo olwatuuka bwe yayingira eri omukazi wa muganda we, n'agafuka wansi, aleme okuwa muganda we ezzadde. 10#Kubal 26:19N'ekigambo kye yakola kyali kibi mu maaso ga Mukama: n'oyo n'amutta. 11#Leev 22:13, Luus 1:13Yuda n'alyoka agamba Tamali muka mwana we nti Beerera awo nnamwandu mu nnyumba ya kitaawo, okutuusa Seera omwana wange lw'alimala okukula: kubanga yayogera nti N'oyo aleme okufa nga baganda be. Tamali n'agenda n'abeera mu nnyumba ya kitaawe. 12#Lub 24:67, 2 Sam 13:39Ebiro ne biyitawo omuwala wa Suwa, omukazi wa Yuda, n'afa; Yuda n'ayabya olumbe, n'ayambuka, ye ne mukwano gwe Kira Omwadulamu, e Timuna eri basajja be abaasala endiga ebyoya. 13Ne babuulira Tamali nti Laba, ssezaala wo ayambuka e Timuna okusala endiga ze ebyoya. 14#Lub 38:11,26N'ayambulamu ebyambalo eby'obwannamwandu bwe ne yeebikka olugoye olw'oku mutwe, ne yeewumba, n'atuula mu mulyango gwa Enayimu, ekiri ku kkubo erigenda e Timuna; kubanga yalaba nga Seera amaze okukula, ne batamumuwa okumuwasa. 15Yuda bwe yamulaba, n'alowooza nga mwenzi; kubanga yali yeebisse mu maaso. 16#2 Bassek 4:8, Ez 16:33N'akyamira gy'ali okuva mu kkubo n'ayogera nti Kale nno, nkwegayiridde, nnyingire gy'oli: kubanga teyamanya nga ye muka mwana we. N'ayogera nti Onompa ki bw'onooyingira gye ndi? 17N'ayogera nti Ndikuweereza omwana gw'embuzi ogw'omu kisibo. N'ayogera nti Onompa omusingo, okutuusa lw'oliguweereza? 18N'ayogera nti Musingo ki gwe nnaakuwa? N'ayogera nti akabonero ko n'akajegere ko, n'omuggo gwo oguli mu mukono gwo. N'abimuwa, n'ayingira gy'ali, naye n'aba olubuto olulwe. 19#Lub 38:14N'agolokoka, ne yeegendera, n'ayambulamu olw'okubikka ku mutwe, n'ayambala ebyambalo eby'obunnamwandu bwe. 20Yuda n'aweereza omwana gw'embuzi mu mukono gwa mukwano gwe Omwadulamu, okuweebwa omusingo mu mukono gw'omukazi: naye n'atamulaba. 21N'alyoka abuuza abasajja ab'ekifo kye nti Omwenzi ali ludda wa eyali e Nayimu ku mabbali g'ekkubo? Ne boogera nti Tewabanga wano mwenzi. 22N'addayo eri Yuda, n'ayogera nti Simulabye; era n'abasajja ab'ekifo boogedde nti Tewabanga wano mwenzi. 23Yuda n'ayogera nti Agyetwalire, tuleme okukwatibwa ensonyi: laba, naweerezza omwana ogwo ogw'embuzi, naawe n'otomulaba. 24#Leev 21:9, Balam 19:2Awo olwatuuka emyezi ng'esatu bwe gyayitawo ne babuulira Yuda nti Tamali muka mwana wo yayenda; era nate, laba, ali lubuto lwa bwenzi. Yuda n'ayogera nti Mumufulumye, bamwokye. 25#Lub 38:18, Lub 39:4Bwe baamufulumya, n'atumira ssezaala we, ng'ayogera nti Omusajja nannyini bino ye yangira olubuto: n'ayogera nti Tegeera, nkwegayiridde, bino by'ani, akabonero n'obujegere n'omuggo. 26#Lub 38:14, 1 Sam 24:17Yuda n'abikkiriza, n'ayogera nti Ansinze nze okuba omutuukirivu; kubanga saamuwa Seera omwana wange. N'atamumanya nate lwa kubiri. 27Awo olwatuuka entuuko ze bwe zaatuuka okuzaala, laba abalongo ne baba mu lubuto lwe. 28Awo bwe yali anaatera okuzaala, omu n'afulumya engalo ze: omuzaalisa n'azikwata n'asiba akagoye akamyufu ku ngalo ze, ng'ayogera nti Ono ye asoose okufuluma. 29#1 Byom 2:4Awo olwatuuka bwe yazzaayo engalo, laba muganda we n'afuluma; n'ayogera nti Kiki ekikuwaguza wekka? erinnya lye kyeryava lituumibwa Pereezi. 30Oluvannyuma muganda we n'afuluma, eyalina akagoye akamyufu ku ngalo ze: n'atuumwa erinnya Zeera.

Currently Selected:

Olubereberye 38: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in