YouVersion Logo
Search Icon

Olubereberye 40

40
1 # Nek 1:11 Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo, omusenero wa kabaka w'e Misiri n'omufumbiro we ne banyiiza mukama waabwe kabaka w'e Misiri. 2Falaawo n'asunguwalira abaami be bombi, omukulu w'abasenero, n'omukulu w'abafumbiro. 3#Lub 37:36; 39:20N'abasiba mu nnyumba ey'omukulu w'abambowa, mu kkomera, mu kifo Yusufu mwe yasibirwa. 4Omukulu w'abambowa n'abateresa Yusufu, n'abaweereza: ne bamalayo ekiseera nga basibiddwa. 5Ne baloota ekirooto bombi, buli muntu ekirooto kye mu kiro kimu, buli muntu ng'amakulu g'ekirooto kye bwe gali, omusenero n'omufumbiro wa kabaka w'e Misiri, abaasibibwa mu kkomera. 6Yusufu n'ayingira gye baali enkya, n'abalaba, era, laba, baali banakuwadde. 7N'abuuza abaami ba Falaawo abaasibirwa awamu naye mu nnyumba ya mukama we, ng'ayogera nti Kiki ekinakuwazizza bwe kityo amaaso gammwe leero? 8#Dan 2:28Ne bamugamba nti Tuloose ekirooto, so siwali ayinza okutegeeza amakulu gaakyo. Yusufu n'abagamba nti Okutegeeza amakulu si kwa Katonda? mukimbuulire, mbeegayiridde. 9Omusenero omukulu n'abuulira Yusufu ekirooto kye, n'amugamba nti Mu kirooto kyange, laba, omuzabbibu gubadde mu maaso gange; 10ne ku muzabbibu kubaddeko amatabi asatu: ne guba ng'ogwanya, ne gusansula ebimuli; n'ebirimba byagwo ne bibala ezabbibu ennyengevu: 11n'ekikompe kya Falaawo kibadde mu mukono gwange; ne nzirira ezabbibu, ne nzikamulira mu kikompe kya Falaawo, ne mpaayo ekikompe mu mukono gwa Falaawo. 12#Lub 41:26,27Yusufu n'amugamba nti Gano ge makulu gaakyo: amatabi asatu ze nnaku essatu; 13#Zab 3:3, Yer 52:31walibaawo nate ennaku ssatu Falaawo n'alyoka agulumiza omutwe gwo n'akukomyawo mu bwami bwo: era onoowangayo ekikompe mu mukono gwa Falaawo, ng'empisa bwe yali edda bwe wali omusenero we. 14Naye onjijukizanga nze bw'oliraba ebirungi, ondage nze ekisa, nkwegayiridde, onjogerangako eri Falaawo, onziye mu nnyumba muno: 15#Lub 37:28; 39:20kubanga amazima nanyagibwa mu nsi ey'Abaebbulaniya: era ne kuno sikolanga kigambo ekyandibanteesezza mu kkomera. 16Omufumbiro omukulu bwe yalaba ng'amakulu malungi, n'agamba Yusufu nti Nange mbadde mu kirooto kyange, era, laba, ebibbo ebisatu ebibaddemu emmere enjeru ne biba ku mutwe gwange: 17ne mu kibbo ekya waggulu mubaddemu engeri zonna ez'emmere enjokye eza Falaawo; ennyonyi ne ziziriira mu kibbo ku mutwe gwange. 18Yusufu n'addamu n'ayogera nti Gano ge makulu gaakyo: ebibbo ebisatu ze nnaku essatu; 19walibaawo nate ennaku ssatu Falaawo n'alyoka agulumiza omutwe gwo okuva ku ggwe, era alikuwanika ku muti; n'ennyonyi zirirya ennyama yo okugiggya ku ggwe. 20#Mat 14:6, Mak 6:21Awo olwatuuka ku lunaku olw'okusatu, lwe lunaku Falaawo lwe yazaalibwako, n'afumbira abaddu be bonna embaga; n'agulumiza omutwe gw'omusenero omukulu n'omutwe gw'omufumbiro omukulu mu baddu be. 21#Lub 40:13, Nek 2:1N'akomyawo nate omusenero omukulu mu busenero bwe; n'awangayo ekikompe mu mukono gwa Falaawo: 22#Lub 40:19naye n'awanika omufumbiro omukulu: nga Yusufu bwe yabategeeza amakulu. 23Naye omusenero omukulu n'atajjukira Yusufu, naye n'amwerabira.

Currently Selected:

Olubereberye 40: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy