Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo, omukazi wa mukama we n'atunuulira Yusufu; n'ayogera nti Sula nange. Naye n'agaana, n'agamba omukazi wa mukama we nti Laba, mukama wange tamanyi ebiri nange mu nnyumba, era yateeka byonna by'alina mu mukono gwange; tewali ansinga nze obukulu mu nnyumba muno; so teyasigaza kintu obutakimpa nze wabula ggwe, kubanga oli mukazi we: kale nnyinza ntya okwonoona, okwenkanidde wano, n'okusobya ku Katonda?