Bible App logo
Search Icon

Abaggalatiya 6

6
1 # Mat 18:15, Yak 5:19 Ab'oluganda, omuntu bw'alabibwanga ng'ayonoonye, mmwe ab'omwoyo mumulongoosenga ali bw'atyo mu mwoyo gw'obuwombeefu; nga weekuuma wekka naawe olemenga okukemebwa. 2Mubeeraganenga emigugu mwekka na mwekka, mutuukirizenga bwe mutyo etteeka lya Kristo. 3Kubanga omuntu bwe yeerowoozanga okuba ekintu, nga si kintu, nga yeerimbalimba. 4#2 Kol 13:5Naye buli muntu akemenga omulimu gwe ku bubwe, alyoke abeere n'okwenyumiriza ku bubwe yekka so si ku bwa mulala. 5#Bar 14:12Kubanga buli muntu alyetikka omutwalo gwe ye.
6 # 1 Kol 9:14 Naye ayigirizibwanga ekigambo assenga ekimu n'oyo ayigiriza mu birungi byonna. 7Temulimbibwanga; Katonda tasekererwa: kubanga omuntu kyonna ky'asiga era ky'alikungula. 8#Bar 8:13, Yok 6:63; 3:6Kubanga asigira omubiri gwe ye, alikungula mu mubiri okuvunda; naye asigira Omwoyo, alikungula mu Mwoyo obulamu obutaggwaawo. 9#2 Bas 3:13Tuleme okuddiriranga mu kukola obulungi: kubanga ebiro bwe birituuka, tulikungula, nga tetuzirise. 10#2 Peet 1:7Kale, bwe tunaalabanga ebbanga, tubakolenga obulungi bonna, naye okusinga abo abali mu nnyumba ey'okukkiriza.
11Mulabe bwe mbawandiikidde mu nnukuta ennene n'omukono gwange nze. 12#Bag 5:11, Baf 3:18Bonna abaagala okwewoomereza mu mubiri be babawaliriza okukomolebwanga; kyokka balemenga okuyigganyizibwa olw'omusalaba gwa Kristo. 13Kubanga era n'abo bennyini abakomolebwa amateeka tebagakwata; naye baagala mmwe okukomolebwanga, balyoke beenyumiririzenga ku mubiri gwammwe. 14#1 Kol 1:31; 2:2Naye nze ssaagala kwenyumirizanga, wabula ku musalaba gwa Mukama waffe yesu Kristo; olw'ogwo ensi ekomereddwa gye ndi, nange eri ensi. 15#Bag 5:6, 1 Kol 7:19, Baf 3:3Kubanga okukomolebwa si kintu, newakubadde obutakomolebwa, wabula ekitonde ekiggya. 16#Zab 125:5N'abo bonna abanaatambuliranga mu tteeka eryo, emirembe gibenga ku bo, n'okusaasirwa, ne ku Isiraeri wa Katonda.
17 # 2 Kol 4:10 Okutanula kaakano, omuntu yenna aleme okunteganyanga: kubanga ntwala enkovu za Yesu zisaliddwa ku mubiri gwange.
18Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga wamu n'omwoyo gwammwe, ab'oluganda. Amiina.

Currently Selected:

Abaggalatiya 6: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in