1
Abaggalatiya 6:9
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
Tuleme okuddiriranga mu kukola obulungi: kubanga ebiro bwe birituuka, tulikungula, nga tetuzirise.
Compare
Explore Abaggalatiya 6:9
2
Abaggalatiya 6:10
Kale, bwe tunaalabanga ebbanga, tubakolenga obulungi bonna, naye okusinga abo abali mu nnyumba ey'okukkiriza.
Explore Abaggalatiya 6:10
3
Abaggalatiya 6:2
Mubeeraganenga emigugu mwekka na mwekka, mutuukirizenga bwe mutyo etteeka lya Kristo.
Explore Abaggalatiya 6:2
4
Abaggalatiya 6:7
Temulimbibwanga; Katonda tasekererwa: kubanga omuntu kyonna ky'asiga era ky'alikungula.
Explore Abaggalatiya 6:7
5
Abaggalatiya 6:8
Kubanga asigira omubiri gwe ye, alikungula mu mubiri okuvunda; naye asigira Omwoyo, alikungula mu Mwoyo obulamu obutaggwaawo.
Explore Abaggalatiya 6:8
6
Abaggalatiya 6:1
Ab'oluganda, omuntu bw'alabibwanga ng'ayonoonye, mmwe ab'omwoyo mumulongoosenga ali bw'atyo mu mwoyo gw'obuwombeefu; nga weekuuma wekka naawe olemenga okukemebwa.
Explore Abaggalatiya 6:1
7
Abaggalatiya 6:3-5
Kubanga omuntu bwe yeerowoozanga okuba ekintu, nga si kintu, nga yeerimbalimba. Naye buli muntu akemenga omulimu gwe ku bubwe, alyoke abeere n'okwenyumiriza ku bubwe yekka so si ku bwa mulala. Kubanga buli muntu alyetikka omutwalo gwe ye.
Explore Abaggalatiya 6:3-5