YouVersion Logo
Search Icon

Abaefeso 1

1
1 # Bar 1:7, Bak 1:1, 1 Kol 1:2 Pawulo, omutume wa Kristo Yesu olw'okwagala kwa Katonda, eri abatukuvu abali mu Efeso n'abakkiriza mu Kristo Yesu: 2ekisa kibeerenga gye muli n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo.
# Bak 1:2 3#Bef 2:6Yeebazibwe Katonda Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, eyatuwa buli mukisa gwonna ogw'Omwoyo mu bifo eby'omu ggulu mu Kristo: 4#Yok 15:16; 17:24, Bef 5:27nga bwe yatulondera mu ye ng'ensi tennaba kutondebwa, ffe okubeera abatukuvu abatalina kabi mu maaso ge mu kwagala: 5#Bar 8:29, Yok 1:12bwe yatwawula edda okumufuukira abaana ku bwa Yesu Kristo, nga bwe yasiima olw'okwagala kwe, 6#Mat 3:17, Bak 1:13ekitiibwa ky'ekisa kye kiryoke kitenderezebwenga, kye yatuwa obuwa mu oyo omwagalwa: 7#Bak 1:14,20, Bef 2:7; 3:8,16eyatuweesa okununulibwa kwaffe olw'omusaayi gwe, okusonyiyibwa ebyonoono byaffe, ng'obugagga obw'ekisa kye bwe buli, 8#Bak 1:9kye yasukkiriza gye tuli mu magezi gonna n'okutegeera kwonna. 9#Bef 3:9, Bar 16:25bwe yatutegeeza ekyama eky'okwagala kwe, nga bwe yasiima yekka, nga bwe yamalirira edda mu ye, 10#Bak 4:4, Bak 1:16olw'obuwanika obw'omu bire ebituukirivu, okugattira awamu byonna mu Kristo, ebiri mu ggulu n'ebiri ku nsi; 11#Bak 1:12, Bar 8:28mu oyo naffe mwe twafuukira obusika, bwe twayawulibwa edda mu kumalirira kw'oyo akoza byonna nga bw'ayagala mu kuteesa kwe; 12ffe tulyoke tubeere ettendo ly'ekitiibwa kye, ffe abaasooka okusuubira mu Kristo: 13#Bef 4:30, Bak 1:5,6era nammwe mu ye, bwe mwawulira ekigambo eky'amazima, enjiri ey'obulokozi bwammwe, mu oyo, n'okukkiriza bwe mwakkiriza, ne muteekebwako akabonero n'Omwoyo Omutukuvu eyasuubizibwa, 14#2 Kol 1:22; 5:5gwe musingo gw'obusika bwaffe, okutuusa envuma ya Katonda lw'erinunulibwa, ekitiibwa kye kitenderezebwe.
15 # Bak 1:4,9 Bwe nnawulira okukkiriza Mukama waffe Yesu okuli mu mmwe, era kwe mulaga eri abatukuvu bonna, 16#Bak 1:3kyenva sirekangayo kwebaza, nga mboogerako mu kusaba kwange; 17#Bak 1:10Katonda wa Mukama waffe Yesu Kristo, Kitaffe ow'ekitiibwa, abawe omwoyo ogw'amagezi n'ogw'okubikkulirwa mu kumutegeera ye; 18#Ma 33:3,4, Bak 1:5,11,12,27nga mumulisibwanga amaaso ag'omutima gwammwe, mmwe okumanya essuubi ery'okuyita kwe bwe liri, obugagga obw'ekitiibwa eky'obusika bwe mu batukuvu bwe buli, 19#2 Kol 13:4, Bak 1:11; 2:12era obukulu obusinga ennyo obw'amaanyi ge eri ffe abakkiriza bwe buli, ng'obuyinza bw'amaanyi ge bwe bukola, 20#Zab 110:1ge yakoza mu Kristo, bwe yamuzuukiza mu bafu, n'amutuuza ku mukono gwe ogwa ddyo mu bifo eby'omu ggulu, 21#Bak 1:16; 2:10waggulu nnyo okusinga okufuga kwonna n'obuyinza n'amaanyi n'obwami na buli linnya eryatulwa si mu mirembe gino gyokka naye ne mu egyo egigenda okujja: 22#Zab 8:6, Mat 28:18, Bef 4:15, Bak 1:18n'ateeka byonna wansi w'ebigere bye, n'amuteekawo okuba omutwe ku byonna eri ekkanisa, 23#Bar 12:5, Bak 1:19, 1 Kol 12:27, Bef 4:10gwe mubiri gwe, okutuukirira ku oyo atuukiriza byonna mu byonna.

Currently Selected:

Abaefeso 1: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy