Abaggalatiya 5
5
1 #
Bag 4:5,31, Bik 15:10 Mu ddembe Kristo yatufuula ba ddembe: kale munywere, mulemenga okusibibwa nate mu kikoligo ky'obuddu.
2 #
2 Kol 10:1
Laba, nze Pawulo mbagamba nti bwe munaakomolebwanga, Kristo talibaako ky'alibagasa. 3Era nate ntegeeza buli muntu akomolebwa nti alina ebbanja ery'okukolanga eby'amateeka byonna. 4Mwawuliddwa eri Kristo, mmwe abaagala okuweebwa obutuukirivu mu mateeka; mugudde okuva mu kisa. 5Kubanga ffe ku bw'Omwoyo olw'okukkiriza tulindirira essuubi ery'obutuukirivu. 6#Bag 6:15, 1 Kol 7:19Kubanga mu Kristo Yesu okukomolebwa tekulina maanyi newakubadde obutakomolebwa, wabula okukkiriza okukola olw'okwagala. 7Mwali mutambula bulungi; ani eyabaziyiza okugonderanga amazima? 8#Bag 1:6Okuwemba okwo tekwava eri oyo abayita. 9#1 Kol 5:6Ekizimbulukusa ekitono kizimbulukusa ekitole kyonna. 10#Bag 1:7, 2 Kol 11:15Mbeesiga mmwe mu Mukama waffe, nti temulirowooza kigambo kirala: naye oyo abateganya alibaako omusango gwe, ne bw'aliba ani. 11#1 Kol 1:23Naye nze, ab'oluganda, oba nga nkyayigiriza okukomolebwa, kiki ekikyanjigganyisa? kale enkonge ey'omusalaba ng'evuddewo. 12#Zab 12:3Nnandyagadde bali abababuguutanya n'okweyawula beeyawule.
13 #
1 Peet 2:16
Kubanga mmwe, ab'oluganda, mwayitibwa lwa ddembe; naye eddembe lyammwe liremenga okubeera omubiri kwe guyima, naye olw'okwagala muweerezaganenga mwekka na mwekka. 14#Leev 19:18Kubanga amateeka gonna gatuukirira mu kigambo kimu, mu kino nti Oyagalanga muntu munno nga bwe weeyagala wekka. 15Naye bwe mulumagana, bwe mulyaŋŋana, mwegenderezenga mulemenga okwemalawo mwekka na mwekka.
16Naye njogera nti Mutambulirenga mu Mwoyo, kale temuutuukirizenga kwegomba kwa mubiri. 17#Bar 7:15,23, Yak 4:5, 1 Peet 2:11Kubanga omubiri gwegomba nga guwakana n'Omwoyo, n'Omwoyo nga guwakana n'omubiri; kubanga ebyo byolekanye, mulemenga okukola ebyo bye mwagala. 18#Bar 8:14Naye bwe muluŋŋamizibwa Omwoyo, nga temufugibwa mateeka. 19Naye ebikolwa by'omubiri bya lwatu, bye bino, obwenzi, empitambi, obukaba, 20okusinza ebifaananyi, okuloga, obulabe, okuyomba, obuggya, obusungu, empaka, okweyawula, okwesalamu, 21#Bef 5:5, Kub 22:15ettima, obutamiivu, ebinyumu, n'ebiri ng'ebyo: nsooka okubabuulira ku ebyo, nga bye nnasooka okubabuulira, nti bali abakola ebiri ng'ebyo tebalisikira bwakabaka bwa Katonda. 22#Bef 5:9Naye ebibala by'Omwoyo kwe kwagala, okusanyuka, emirembe, okugumiikiriza, ekisa, obulungi, okukkiriza, 23#1 Tim 1:9obuwombeefu, okwegendereza: ku biri ng'ebyo tewali mateeka. 24#Bar 6:6, Bak 3:5, 1 Peet 2:11N'abo aba Kristo Yesu baakomerera omubiri wamu n'okukwatibwa n'okwegomba kwagwo.
25 #
Bar 8:4
Bwe tuba abalamu ku bw'Omwoyo, era tutambulenga ku bw'Omwoyo. 26#Baf 2:3Tuleme okwenyumiririzanga obwereere, nga twesunguwaza fekka na fekka, nga tukwatibwa obuggya fekka na fekka.
Currently Selected:
Abaggalatiya 5: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.