Bible App logo
Search Icon

Abaggalatiya 4

4
1Naye njogera nti omusika ng'akyali muto tayawulwa na muddu n'akatono, newakubadde nga ye mukama wa byonna; 2naye afugibwa abasigire n'abawanika okutuusa entuuko kitaawe ze yalagira edda. 3#Bag 3:23; 5:1, Bak 2:20Bwe tutyo naffe, bwe twabanga abato, twabanga baddu nga tufugibwa eby'olubereberye eby'omu nsi: 4#Bef 1:10naye okutuukirira kw'ebiro bwe kwatuuka, Katonda n'atuma Omwana we eyazaalibwa omukazi eyazaalibwa ng'afugibwa amateeka, 5#Bag 3:13,26alyoke abanunule abaafugibwa amateeka, tulyoke tuweebwe okufuuka abaana. 6#Bar 8:15Era kubanga muli baana, Katonda yatuma Omwoyo gw'Omwana we mu mitima gyaffe, ng'akaaba nti Aba, Kitaffe. 7#Bag 3:29, Bar 8:16,17Bwe kityo naawe tokyali muddu, naye mwana; oba ng'oli mwana, era oli musika ku bwa Katonda.
8Naye mu nnaku ziri bwe mutaamanyanga Katonda, mwabanga baddu ba bali abatali bakatonda mu buwangwa: 9naye kaakano bwe mutegedde Katonda, oba ekisinga bwe mutegeddwa Katonda, mukyuka mutya ennyuma mu bigambo eby'olubereberye ebitalina maanyi ebinafu, ate bye mwagala okufugibwa omulundi ogw'okubiri? 10#Bar 14:5, Bak 2:16Mukwata ennaku n'emyezi n'ebiro n'emyaka. 11#2 Yok 1:8Mbakeŋŋentererwa okutegana kwange gye muli okuba okw'obwereere.
12 # 2 Kol 2:5 Mubeere nga nze, kubanga nange ndi nga mmwe, ab'oluganda mbeegayiridde. Temunnyonoonanga: 13#Bik 16:6, 1 Kol 2:3naye mumanyi ng'olw'obunafu bw'omubiri nnababuulira enjiri omulundi ogw'olubereberye: 14#Bik 14:11,12era okukemebwa kwammwe okw'omu mubiri gwange temwakunyooma so temwakulondoola, naye mwanzikiriza nga malayika wa Katonda, nga Kristo Yesu. 15Kale okwetenda kwammwe kuli luuyi wa? kubanga ndi mujulirwa wammwe nti, singa kyali kiyinzika, mwandiggyeemu amaaso gammwe ne mugawa nze. 16#Am 5:10Kale nfuuse mulabe wammwe nga mbabuulira amazima? 17#Bag 1:7Beegonza gye muli naye si bulungi; naye kye baagala kwe kubaggalira ebweru, mmwe mulyoke mwegonzenga gye bali. 18Naye kirungi abantu okwegonzanga mu bulungi ennaku zonna, naye si nze lwe mbeera nammwe lwokka. 19#1 Kol 4:15Abaana bange abato, abannuma nate okutuusa Kristo lw'alibumbibwa mu mmwe, 20era nnandyagadde okubeera nammwe kaakano, n'okuwaanyisa eddoboozi lyange, kubanga mbuusabuusa olw'ebigambo byammwe.
21 # Bag 3:23 Mumbuulire mmwe abaagala okufugibwa amateeka, temuwulira mateeka? 22#Lub 16:15; 21:2,9Kubanga kyawandiikibwa nti Ibulayimu yalina abaana babiri, omu wa muzaana, omu wa wa ddembe. 23#Bar 9:7-9, Lub 17:16Naye ow'omuzaana yazaalibwa lwa mubiri; naye ow'ow'eddembe lwa kusuubiza. 24#Bag 5:1, Bar 8:15Ebyo bya lugero: kubanga abakazi abo ze ndagaano bbiri; emu eva ku lusozi Sinaayi, ezaala olw'obuddu, eyo ye Agali. 25Agali oyo lwe lusozi Sinaayi, oluli mu Buwalabu, era yenkanankana ne Yerusaalemi ekya kaakano: kubanga muddu wamu n'abaana be. 26#Beb 12:22Naye Yerusaalemi eky'omu ggulu kye ky'eddembe, ye nnyaffe. 27#Is 54:1Kubanga kyawandiikibwa nti
Sanyuka, omugumba atazaala;
Baguka okwogerera waggulu, atalumwa:
Kubanga abaana b'oyo eyalekebwayo bangi okusinga ab'oyo alina omusajja.
28Naye ffe, ab'oluganda, tuli baana ba kusuubiza nga Isaaka bwe yali. 29#Lub 21:9Naye nga mu biro biri eyazaalibwa olw'omubiri nga bwe yayigganya eyazaalibwa olw'Omwoyo, bwe kityo ne kaakano. 30#Lub 21:10,12, Yok 8:35Naye ebyawandiikibwa byogera bitya? nti Goba omuzaana n'omwana we: kubanga omwana w'omuzaana talisikira wamu n'omwana w'ow'eddembe. 31#Bag 3:29Kale, ab'oluganda, ffe tetuli ba muzaana, naye ba wa ddembe.

Currently Selected:

Abaggalatiya 4: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in