Bible App logo
Search Icon

Abaggalatiya 3

3
1Mmwe Abaggalatiya abatalina magezi, ani eyabaloga, so nga Yesu Kristo yakomererwa nga mulaba? 2Kino kyokka kye njagala mmwe okuntegeeza nti Mwaweebwa Omwoyo lwa bikolwa bya mateeka nantiki lwa kuwulira kwa kukkiriza? 3Bwe mutyo bwe mutalina magezi? Abaasookera mu Mwoyo, kaakati mutuukiririzibwa mu mubiri? 4Mwabonyaabonyezebwa ebyenkana awo bya bwereere? so nga ddala si bwereere. 5Abawa Omwoyo, akola eby'amaanyi mu mmwe, akola lwa bikolwa bya mateeka nantiki lwa kuwulira kwa kukkiriza? 6Nga Ibulayimu bwe yakkiriza Katonda, ne kumubalirwa okubeera obutuukirivu. 7#Lub 15:6Kale mutegeere ng'abayima mu kukkiriza be baana ba Ibulayimu. 8#Lub 12:3; 18:18, Bik 3:25N'ekyawandiikibwa bwe kyalaba edda Katonda bw'aliwa amawanga obutuukirivu olw'okukkiriza, ne kibuulira olubereberye Ibulayimu enjiri nti Mu ggwe amawanga gonna mmwe galiweerwa omukisa. 9#Bar 4:16Bwe kityo abayima mu kukkiriza baweerwa omukisa awamu ne Ibulayimu eyalina okukkiriza. 10#Ma 27:26Kubanga bonna abayima mu bikolwa by'amateeka, bafugibwa kikolimo: kubanga kyawandiikibwa nti Akolimiddwa buli ataabinyiikirira byonna ebyawandiikibwa mu kitabo ky'amateeka, okubikolanga. 11#Kaab 2:4, Bar 1:17, Beb 10:38Era kimanyiddwa nga mu mateeka tewali aweebwa butuukirivu eri Katonda: kubanga nti Abatuukirivu banaabeeranga balamu lwa kukkiriza; 12#Leev 18:5, Bar 10:5naye amateeka tegayima mu kukkiriza; naye nti Omuntu agakola anaabeeranga mulamu mu go. 13#Bar 8:3, Ma 21:23, 2 Kol 5:21Kristo yatununula mu kikolimo ky'amateeka, bwe yafuuka ekikolimo ku lwaffe: kubanga kyawandiikibwa nti Akolimiddwa buli awanikiddwa ku muti: 14omukisa gwa Ibulayimu gulyoke gutuuke eri amawanga mu Kristo Yesu; tulyoke tuweebwe ekyasuubizibwa eky'Omwoyo olw'okukkiriza.
15Ab'oluganda, njogera mu buntu: endagaano newakubadde nga ya muntu buntu bw'emala okunywera tewali agiggyawo newakubadde agyongerako. 16#Lub 12:7; 13:15; 17:7; 22:18; 24:7Ebyasuubizibwa byagambibwa Ibulayimu n'omuzzukulu we. Tayogera nti N'eri abazzukulu, nga bangi, naye ng'omu nti N'eri omuzzukulu wo, ye Kristo. 17#Kuv 12:40Kino kye njogera nti Endagaano eyasooka okunywezebwa Katonda, amateeka agajja nga wayiseewo emyaka ebikumi bina mu asatu tegagiggyaawo n'okudibya ekyasuubizibwa. 18#Bar 11:6Kuba oba ng'obusika buva mu mateeka, nga tebuva nate mu kusuubiza: naye Katonda yabuwa Ibulayimu olw'okusuubiza. 19#Bar 5:20, Beb 2:2, Bik 7:38,53Kale amateeka kiki? Gassibwawo lwa kwonoona okutuusa w'alijjira omuzzukulu eyasuubizibwa, gaalagirwa bamalayika mu mikono gy'omutabaganya. 20Naye omutabaganya si w'omu; naye Katonda ye omu. 21#Bar 8:2-4Kale amateeka tegatabagana n'ebyasuubizibwa Katonda? Kitalo: kuba singa amateeka gaaweebwa nga ge gayinza okuleeta obulamu, ddala obutuukirivu bwandibadde mu mateeka. 22#Bar 3:9-19; 11:32Naye ebyawandiikibwa byabisiba byonna mu bufuge bw'ekibi, abakkiriza balyoke baweebwe ekyasuubizibwa ekiva mu kukkiriza Yesu Kristo.
23 # Bag 4:3, 1 Peet 1:5 Naye okukkiriza nga tekunnaba kujja, twakuumirwanga mu bufuge bwa mateeka, nga tusibibwa olw'okukkiriza okugenda okubikkulwa. 24Bwe kityo amateeka yali mutwazi waffe eri Kristo, tulyoke tuweebwe obutuukirivu olw'okukkiriza. 25#Bar 10:4Naye okukkiriza bwe kumaze okujja, tetukyali mu bufuge bwa mutwazi. 26#Yok 1:12, Bar 8:17Kubanga mmwe mwenna muli baana ba Katonda olw'okukkiriza, mu Kristo Yesu. 27#Bar 6:3; 13:14Kubanga mwenna abaabatizibwa okuyingira mu Kristo, mwayambala Kristo. 28#Bar 10:12, 1 Kol 12:13Tewali Muyudaaya, newakubadde Omuyonaani, tewali muddu newakubadde ow'eddembe, tewali musajja na mukazi: kubanga mmwe mwenna muli omu mu Kristo Yesu. 29#Bar 9:7Era mmwe bwe muli aba Kristo, kale muli zzadde lya Ibulayimu, era muli basika ng'okusuubiza bwe kwali.

Currently Selected:

Abaggalatiya 3: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in