1
Abaggalatiya 4:6-7
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
Era kubanga muli baana, Katonda yatuma Omwoyo gw'Omwana we mu mitima gyaffe, ng'akaaba nti Aba, Kitaffe. Bwe kityo naawe tokyali muddu, naye mwana; oba ng'oli mwana, era oli musika ku bwa Katonda.
Compare
Explore Abaggalatiya 4:6-7
2
Abaggalatiya 4:4-5
naye okutuukirira kw'ebiro bwe kwatuuka, Katonda n'atuma Omwana we eyazaalibwa omukazi eyazaalibwa ng'afugibwa amateeka, alyoke abanunule abaafugibwa amateeka, tulyoke tuweebwe okufuuka abaana.
Explore Abaggalatiya 4:4-5
3
Abaggalatiya 4:9
naye kaakano bwe mutegedde Katonda, oba ekisinga bwe mutegeddwa Katonda, mukyuka mutya ennyuma mu bigambo eby'olubereberye ebitalina maanyi ebinafu, ate bye mwagala okufugibwa omulundi ogw'okubiri?
Explore Abaggalatiya 4:9