Okuva 7
7
1 #
Kuv 4:16
Mukama n'agamba Musa nti Laba, nkufudde Katonda eri Falaawo: era Alooni muganda wo alibeera nabbi wo. 2#Kuv 4:15; 6:29Olyogera buli kye nkulagira: ne Alooni muganda wo aligamba Falaawo, aleke abaana ba Isiraeri bave mu nsi ye. 3#Kuv 4:21; 11:9Nange ndikakanyaza omutima gwa Falaawo, ne nnyongera obubonero bwange n'amagero gange mu nsi y'e Misiri. 4#Kuv 6:6Naye Falaawo talibawulira, nange nditeeka omukono gwange ku Misiri, ne nfulumya eggye lyange, abantu bange abaana ba Isiraeri, mu nsi y'e Misiri n'emisango eminene. 5#Kuv 3:20; 14:4Nabo Abamisiri balimanya nga nze Mukama, bwe ndigolola omukono gwange ku Misiri, ne mbaggyako abaana ba Isiraeri mu bo. 6Musa ne Alooni ne bakola bwe batyo; Mukama nga bwe yabalagira bwe batyo bwe baakola. 7#Bik 7:23,30Ne Musa yali nga yaakamala emyaka kinaana, ne Alooni nga yaakamala emyaka kinaana mu esatu, bwe baayogera ne Falaawo.
8Mukama n'agamba Musa ne Alooni ng'ayogera nti 9#Kuv 4:2,3,17, Yok 2:18; 6:30Falaawo bw'alibagamba ng'ayogera nti Mukoleewo eky'amagero: n'olyoka ogamba Alooni nti Twala omuggo gwo ogusuule wansi mu maaso ga Falaawo, gube omusota. 10Musa ne Alooni ne bayingira ewa Falaawo, ne bakola bwe batyo nga Mukama bwe yalagira: Alooni n'asuula omuggo gwe wansi mu maaso ga Falaawo ne mu maaso g'abaddu be, ne guba omusota. 11Falaawo naye n'alyoka ayita abagezi n'abalogo: era nabo abasawo Abamisiri ne bakola bwe batyo n'amagezi gaabwe ag'ekyama. 12#Lub 41:8, Kuv 7:22; 8:7, 2 Tim 3:8Kubanga baasuula buli muntu omuggo gwe, ne giba emisota: naye omuggo gwa Alooni ne gumira emiggo gyabwe. 13#Kuv 7:14,22; 8:19; 9:7,35Falaawo omutima gwe ne gukakanyala, n'atabawulira; nga Mukama bwe yayogera.
14Mukama n'agamba Musa nti Falaawo omutima gwe guzitowa, agaana okubaleka abantu. 15#Kuv 4:2,3,17Ogenda eri Falaawo enkya; laba, afuluma okugenda ku mugga; naawe oliyimirira ku mabbali g'omugga okumusisinkana; n'omuggo ogwafuuka omusota oligutwala mu mukono gwo. 16#Kuv 3:18; 5:3N'omugamba nti Mukama, Katonda wa Baebbulaniya, antumye gy'oli ng'ayogera nti Leka abantu bange, bampeerereze mu ddungu: era, laba, okutuusa kaakano towulira. 17#Kuv 4:9; 7:5, Kub 16:4Bw'atyo Mukama by'ayogera nti Ku kino kw'olimanyira nga nze Mukama: laba, ndikuba n'omuggo oguli mu mukono gwange ku mazzi agali mu mugga, galifuuka omusaayi. 18#Kuv 7:21,24, Zab 78:45N'eby'omu nnyanja birifa, omugga guliwunya: Abamisiri amazzi ag'omu mugga galibatama okunywako. 19#Kuv 8:5,16; 9:23; 10:13,14,16Mukama n'agamba Musa nti Gamba Aloni nti Twala omuggo gwo ogolole omukono gwo ku mazzi g'e Misiri, ku migga gyabwe, ku nsalosalo zaabwe, ne ku bidiba byabwe, ne ku nnyanja zaabwe zonna ez'amazzi, gafuuke omusaayi; era mulibeera omusaayi mu nsi yonna ey'e Misiri, mu ntiba ez'omuti ne mu nsuwa ez'amayinja. 20#Zab 78:44; 105:29Musa ne Alooni ne bakola bwe batyo nga Mukama bwe yalagira; n'ayimusa omuggo, n'akuba amazzi agaali mu mugga, mu maaso ga Falaawo ne mu maaso g'abaddu be; amazzi gonna agaali mu mugga ne gafuuka omusaayi. 21N'eby'omu mugga ne bifa; omugga ne guwunya, Abamisiri ne batayinza kunywa amazzi mu mugga; omusaayi ne gubeera mu nsi yonna ey'e Misiri. 22#Kuv 7:11,13Ne bakola bwe batyo abasawo Abamisiri mu magezi gaabwe ag'ekyama; Falaawo omutima gwe ne gukakanyala, n'atabawulira; nga Mukama bwe yayogera. 23Falaawo n'akyuka n'agenda mu nnyumba ye, so n'atabiteekako mwoyo ebyo. 24Abamisiri bonna ne basima kumpi n'omugga bafune amazzi okunywa; kubanga amazzi ag'omugga tebaayinza kunywako. 25Ennaku musanvu ne zituukirira, Mukama ng'amaze okukuba omugga.
Currently Selected:
Okuva 7: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.