Okuva 8
8
1Mukama n'agamba Musa nti Yingira eri Falaawo, omugambe nti Bw'atyo Mukama bw'ayogera nti Leka abantu bange, bampeereze. 2#Kuv 7:14; 9:2Era bw'onoogaana ggwe okubaleka, laba, ndikuba ensalo zo zonna n'ebikere: 3#Zab 105:30n'omugga gulijjula ebikere, ebiririnnya ne biyingira mu nnyumba yo ne mu kisenge kyo mw'osula, ne ku kiriri kyo, ne mu nnyumba y'abaddu bo, ne ku bantu bo, ne mu ntamu zo, ne mu bibbo eby'okugoyeramu: 4n'ebikere biririnnya ku ggwe, era ne ku bantu bo, ne ku baddu bo bonna. 5#Kuv 7:19Mukama n'agamba Musa nti Gamba Alooni nti Golola omukono gwo n'omuggo gwo ku migga, ku nsalosalo, ne ku bidiba, olinnyise ebikere ku nsi ey'e Misiri. 6#Zab 78:45Alooni n'agolola omukono gwe ku mazzi g'e Misiri; ebikere ne birinnya ne bisaanikira ensi ey'e Misiri. 7#Kuv 7:11N'abasawo ne bakola bwe batyo n'amagezi gaabwe ag'ekyama, ne balinnyisa ebikere ku nsi y'e Misiri.
8 #
Kuv 8:25-28; 9:28; 10:17,18, Kubal 21:7, 1 Bassek 13:6, Bik 8:24 Falaawo n'alyoka abayita Musa ne Alooni, n'ayogera nti Musabe Mukama anziyeko ebikere nze n'abantu bange: nange naabaleka abantu, baweeyo saddaaka eri Mukama. 9Musa n'agamba Falaawo nti Olw'ekyo weenyumiriza ku nze: mu biro ki mwe mba nkusabira ggwe n'abaddu bo n'abantu bo ebikere bizikirizibwe kuggwe ne ku nnyumba zo, bisigale mu mugga mwokka? 10#Kuv 9:14, Ma 33:26, 2 Sam 7:22, Zab 86:8, Is 46:9, Yer 10:6,7N'ayogera nti Ku lwa jjo. N'ayogera nti Kibe ng'ekigambo kyo: olyoke omanye nga tewali afaanana nga Mukama Katonda waffe. 11N'ebikere birikuleka ggwe n'ennyumba zo n'abaddu bo n'abantu bo; birisigala mu mugga mwokka. 12Musa ne Alooni ne bava eri Falaawo: Musa n'akaabira Mukama ku lw'ebikere bye yamuleetera Falaawo. 13Mukama n'akola ng'ekigambo kya Musa: ebikere ne bifiira mu nnyumba, mu mpya, ne mu nsuku. 14Ne babikuŋŋaanya entuumo n'entuumo: ensi n'ewunya. 15#Kuv 8:32; 9:34, 1 Sam 6:6, Mub 8:11Naye Falaawo bwe yalaba ng'ebbanga weeriri ery'okuwummuliramu, n'akakanyaza omutima gwe n'atabawulira; nga Mukama bwe yayogera.
16 #
Kuv 7:19
Mukama n'agamba Musa nti Gamba Alooni nti Golola omuggo gwo okube enfuufu y'ensi, ebe ensekere mu nsi yonna ey'e Misiri. 17#Zab 105:31Ne bakola bwe batyo; Alooni n'agolola omukono gwe n'omuggo gwe n'akuba enfuufu y'ensi, ne waba ensekere ku muntu ne ku nsolo; enfuufu yonna ey'ensi n'eba ensekere mu nsi yonna ey'e Misiri. 18#Kuv 7:11N'abasawo ne bakola bwe batyo n'amagezi gaabwe ag'ekyama balyoke baleete ensekere, naye ne batayinza; ne waba ensekere ku muntu ne ku nsolo. 19#Kuv 7:13; 31:18, Zab 8:3, Luk 11:20Abasawo ne balyoka bagamba Falaawo nti Eno ye ngalo ya Katonda: Falaawo n'akakanyala omutima gwe, n'atabawulira; nga Mukama bwe yayogera.
20 #
Kuv 8:1; 9:13 Mukama n'agamba Musa nti Golokoka ku nkya mu matulutulu oyimirire mu maaso ga Falaawo; laba, afuluma okugenda ku mazzi; omugambe nti Bw'atyo Mukama bw'ayogera nti Leka abantu bange, bampeereze. 21Naye bw'otoobaleke, laba, ndikuleetera ebikuukuulu by'ensowera ggwe n'abaddu bo n'abantu bo ne mu nnyumba zo: n'ennyumba ez'Abamisiri zirijjula ebikuukuulu by'ensowera, era n'ebibanja mwe ziri. 22#Kuv 7:17; 9:4,6,26; 10:23; 11:7Nange ndigyawulako ku lunaku luli ensi ey'e Goseni, abantu bange mwe basula, ebikuukuulu by'ensowera bireme okubeerayo; olyoke omanye nga nze Mukama ali wakati w'ensi. 23Nange nditeekawo okununula wakati mu bantu bange n'abantu bo: jjo lwe kalibeerawo akabonero kano. 24#Zab 78:45; 105:31Mukama n'akola bw'atyo; ebikuukuulu by'ensowera ne bijja ebizibu mu nnyumba ya Falaawo ne mu nnyumba z'abaddu be: ne mu nsi yonna ey'e Misiri ensi n'efa ebikuukuulu by'ensowera. 25Falaawo n'ayita Musa ne Alooni, n'ayogera nti Mugende muweeyo saddaaka eri Katonda wammwe mu nsi eno. 26#Lub 43:32; 46:34Musa n'ayogera nti Si kirungi okukola bwe kityo; kubanga tuliwa eky'omuzizo eky'Abamisiri Mukama Katonda waffe: laba, bwe tulimuwa eky'omuzizo eky'Abamisiri mu maaso gaabwe tebalitukuba amayinja? 27#Kuv 3:12,18Ka tugende olugendo olw'ennaku essatu mu ddungu, tuweeyo saddaaka eri Mukama Katonda waffe, nga bw'alitulagira. 28#Kuv 8:8Falaawo n'ayogera nti Naabaleka, muweeyo saddaaka eri Mukama Katonda wammwe mu ddungu: wabula kino kyokka, temugenda wala nnyo: munsabire. 29#Kuv 8:15Musa n'ayogera nti Laba nva mu maaso go, ndimusaba Mukama ebikuukuulu by'ensowera biggibwewo eri Falaawo, eri abaddu be, n'eri abantu be, jjo: wabula kino kyokka, Falaawo aleme okweyongera nate okulimba obutaleka bantu, baweeyo saddaaka eri Mukama. 30#Kuv 9:33; 10:18Musa n'ava mu maaso ga Falaawo, n'asaba Mukama. 31Mukama n'akola ng'ekigambo kya Musa; n'amuggirawo ebikuukuulu by'ensowera Falaawo, abaddu be, n'abantu be; ne watasigala n'emu. 32#Kuv 8:15Falaawo n'akakanyaza omutima gwe omulundi ogwo nate, n'atabaleka abantu.
Currently Selected:
Okuva 8: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.