Nange ndikakanyaza omutima gwa Falaawo, ne nnyongera obubonero bwange n'amagero gange mu nsi y'e Misiri. Naye Falaawo talibawulira, nange nditeeka omukono gwange ku Misiri, ne nfulumya eggye lyange, abantu bange abaana ba Isiraeri, mu nsi y'e Misiri n'emisango eminene.