Okuva 6
6
1 #
Kuv 3:19; 11:1 Mukama n'amugamba Musa nti Kaakano bw'oliraba bye ndimukola Falaawo: kubanga n'omukono ogw'amaanyi alibaleka, era n'omukono ogw'amaanyi alibagoba mu nsi ye.
2Katonda n'ayogera ne Musa, n'amugamba nti NZE YAKUWA: 3#Lub 17:1; 35:11, Kuv 3:14nalabikira Ibulayimu, ne Isaaka ne Yakobo, nga Katonda Omuyinza w'ebintu byonna, naye mu linnya lyange YAKUWA saamanyibwa nabo. 4#Lub 15:18; 17:4,7,8; 28:4Ne nnyweza nate endagaano yange nabo, okubawa ensi ya Kanani, ensi ey'okutambula kwabwe, gye baatambulamu. 5#Kuv 2:24Nate ne mpulira okusinda kw'abaana ba Isiraeri, Abamisiri be baafuula abaddu; ne njijukira endagaano yange. 6#Kuv 3:17; 7:4; 15:13, Ma 7:8; 26:8, 2 Bassek 17:36, Zab 136:11,12Kyova obabuulira abaana ba Isiraeri nti Nze Yakuwa, nange ndibaggyako emigugu egy'Abamisiri, ndibaggirawo obuddu bwabwe, ndibanunula n'omukono gwe ndigolola n'emisango eminene: 7#Lub 17:7,8, Kuv 29:45,46, Leev 22:33, Ma 7:6; 29:13, 2 Sam 7:24, Kub 21:7era ndibeetwalira okubeera eggwanga, nange ndibabeerera Katonda: nammwe mulimanya nga nze Yakuwa Katonda wammwe, abaggya mu migugu egy'Abamisiri. 8#Lub 15:18; 26:3, Kuv 32:13, Ez 20:5,6,42Era ndibayingiza mu nsi eri, gye nnayimusiza omukono gwange okugiwa Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo; ndigiwa mmwe okubeera obutaka: nze Yakuwa. 9#Kuv 5:21Musa n'agamba bw'atyo abaana ba Isiraeri: naye ne batawulira Musa ku lw'obunaku obw'omwoyo, era ne ku lw'obuddu obukambwe.
10Mukama n'agamba Musa ng'ayogera nti 11Yingira, ogambe Falaawo kabaka w'e Misiri abaleke abaana ba Isiraeri bave mu nsi ye. 12#Kuv 4:10Musa n'ayogera mu maaso ga Mukama ng'agamba nti Laba, abaana ba Isiraeri tebampulidde; Falaawo anampulira atya nze atakomolebwa mimwa? 13Mukama n'agamba Musa ne Alooni, n'abalagira eri abaana ba Isiraeri n'eri Falaawo kabaka w'e Misiri, okuggya abaana ba Isiraeri mu nsi y'e Misiri 14#Lub 46:9, 1 Byom 5:3Abo gye mitwe gy'ennyumba za bajjajja baabwe: abaana ba Lewubeeni omubereberye wa Isiraeri: Kanoki, ne Palu, Kezulooni, ne Kalumi: abo bye bika bya Lewubeeni. 15#Lub 46:10, 1 Byom 4:24N'abaana ba Simyoni; Yemweri, ne Yamini, ne Okadi, ne Yakini, ne Zokali, ne Sawuli omwana w'omukazi Omukanani: abo bye bika bya Simyoni. 16#Lub 46:11, Kubal 3:17, 1 Byom 6:1,16Ne gano ge mannya g'abaana ba Leevi mu mirembe gyabwe; Gerusoni, ne Kokasi, ne Merali: n'emyaka egy'obulamu bwa Leevi emyaka kikumi mu asatu mu musanvu. 17#Kubal 3:18, 1 Byom 6:17Abaana ba Gerusoni: Libuni ne Simeeyi, mu bika byabwe. 18#Kubal 3:19, 1 Byom 6:2,18N'abaana ba Kokasi: Amulaamu ne Izukali, ne Kebbulooni, ne Wuziyeeri: n'emyaka egy'obulamu bwa Kokasi emyaka kikumi mu asatu mu esatu. 19#Kubal 3:20, 1 Byom 6:19N'abaana ba Merali; Makuli ne Musi. Abo bye bika by'Abaleevi mu mirembe gyabwe. 20#Kuv 2:1, 1 Byom 23:13,14Amulaamu n'awasa Yokebedi muganda wa kitaawe; n'amuzaalira Alooni ne Musa: n'emyaka egy'obulamu bwa Amulaamu emyaka kikumi mu asatu mu musanvu. 21#Kubal 16:1, 1 Byom 6:37,38N'abaana ba Izukali: Koola, ne Nefega, ne Zikiri. 22#Leev 10:4, Kubal 3:30N'abaana ba Wuziyeeri; Misaeri, ne Erizafani, ne Sisiri. 23#Leev 10:1, Kubal 3:2, Luus 4:19,20, 1 Byom 6:22,23,37Alooni n'awasa Eriseba, muwala wa Aminadaabu, muganda wa Nakaisoni; n'amuzaalira Nadabu ne Abiku, Eriyazaali ne Isamaali. 24#1 Byom 6:22,23,37N'abaana ba Koola: Asira, ne Erukaana, ne Abiyasaafu; abo bye bika by'Abakoola. 25#Kubal 25:7Eriyazaali, omwana wa Alooni, n'awasa mu bawala ba Putiyeeru; n'amuzaalira Finekaasi. Abo gye mitwe gy'ennyumba za bajjajja b'Abaleevi mu bika byabwe. 26#Kuv 6:13; 7:4; 12:17, Kubal 33:1Abo ye Alooni ne Musa bali Mukama be yagamba nti Muggyeeyo abaana ba Isiraeri mu nsi y'e Misiri mu ggye lyabwe. 27Abo be baagamba Falaawo kabaka w'e Misiri okuggya abaana ba Isiraeri mu Misiri: abo ye Musa ne Alooni bali.
28Awo ku lunaku Mukama lwe yagamba Musa mu nsi y'e Misiri, 29#Kuv 6:2,11Mukama n'agamba Musa ng'ayogera nti Nze Mukama: ogambe Falaawo kabaka w'e Misiri buli kye nkugamba. 30#Kuv 6:12Musa n'ayogera mu maaso ga Mukama nti Laba, nze sikomolebwanga mimwa, Falaawo anampulira atya?
Currently Selected:
Okuva 6: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.