Okuva 23
23
1 #
Ma 19:16-19
Tokkirizanga kigambo kya bulimba: toteekanga mukono gwo awamu n'abatali batuukirivu okubeera omujulirwa ow'obulimba. 2#Kuv 32:1,2, Yob 31:34, Mat 27:24,26, Luk 23:23Togobereranga bangi okukola obubi; so toyogeranga mu nsonga okyame eri abangi okukyusa omusango; 3#Leev 19:15so tomusalirizanga omwavu mu nsonga ye.
4 #
Ma 22:1,4, 1 Bas 5:15 Bw'osanganga ente ey'omulabe wo oba ndogoyi ye ng'ekyama, tolemanga kugimuleetera nate. 5Bw'olabanga endogoyi y'oyo akukyaye ng'egalamizibbwa wansi w'omugugu gwayo, bw'oyagalanga obutamuyamba, tolemanga kumuyamba.
6 #
Is 10:1,2 Tokyusanga musango gwa mwavu wo mu nsonga ye. 7#Leev 19:11, Nge 17:26, Bef 4:25Weebalamanga mu kigambo eky'obulimba; so tomuttanga atalina kabi n'omutuukirivu: kubanga sirifuula omubi okubeera omutuukirivu. 8#Ma 16:19Era toweebwanga kirabo: kubanga ekirabo kibaziba amaaso abatunula, kikyusa ebigamno by'abatuukirivu. 9#Kuv 22:21Tokolanga bubi munnaggwanga: kubanga mmwe mumanyi omutima gw'omunnaggwanga, kubanga mwali bannaggwanga mu nsi ey'e Misiri.
10 #
Leev 25:3
Era emyaka mukaaga osiganga ensi yo, n'okuŋŋaanyanga ebibala byayo. 11Naye omwaka ogw'omusanvu ogiwummuzanga ereme okubeera n'emirimu; abaavu ab'omu bantu bo balyoke balye: gye balekangawo ensolo ey'omu nsiko egiryanga. Bw'otyo bw'onookolanga olusuku lwo olw'emizabbibu, n'olw'emizeeyituuni. 12#Kuv 20:9,10Ennaku omukaaga kolanga emirimu gyo, ne ku lunaku olw'omusanvu wummulanga: ente yo n'endogoyi yo ziryoke ziwummule, n'omwana ow'omuzaana wo, ne munnaggwanga bafune amaanyi. 13#Yos 23:7, Kos 2:17Era mu bigambo byonna bye nnabagamba, mwekuumanga: so toyogeranga n'akatono erinnya lya bakatonda abalala newakubadde okuwulikika mu kamwa ko.
14 #
Kuv 12:15; 13:4, Ma 16:16 Buli mwaka emirundi esatu oneekuumiranga embaga. 15Embaga ey'emigaati egitazimbulukuswa ogyekuumanga: ennaku musanvu olyanga egitazimbulukuswa nga bwe nnakulagira, mu biro ebyateekebwawo mu mwezi gwa Abibu (kubanga mu ogwo mwe mwaviira mu Misiri); so temulabikanga busa mu maaso gange n'omu: 16#Kuv 34:22era embaga ey'okunoga ebibala ebibereberye eby'emirimu gyo, bye wasiga mu nnimiro: era embaga ey'okukungula ku nkomerero y'omwaka, bw'okungulanga emirimu gyo mu nnimiro. 17Buli mwaka emirundi esatu abasajja bo bonna balabikanga mu maaso ga Mukama Katonda.
18 #
Kuv 34:25
Towangayo musaayi gwa ssaddaaka yange wamu n'emigaati egizimbulukuswa; so n'amasavu ag'embaga yange tegasigalangawo ekiro kyonna okutuuka enkya. 19#Kuv 34:26, Ma 26:2,10Ebibereberye eby'ebisooka okubala eby'ensi yo obireetanga mu nnyumba ya Mukama Katonda wo. Tofumbiranga omwana gw'embuzi mu mata ga nnyina gwayo.
20Laba, ntuma malayika mu maaso go, akukuume mu kkubo, akuleete mu kifo kye nnateekateeka. 21#Kuv 32:34, Yos 24:19, Zab 78:40,56Mumutunuulire, mumuwulire eddoboozi lye; temumusunguwaza; kubanga talibasonyiwa okwonoona kwammwe; kubanga erinnya lyange liri mu nda ye. 22#Lub 12:3Naye bw'onoowuliriranga ddala eddoboozi lye, n'okolanga byonna bye njogera; bwe kityo naababeereranga omulabe abalabe bo, ndibaziyiza abakuziyiza. 23#Kuv 33:2, Ma 7:1Kubanga malayika wange alikulembera mu maaso go, alikuyingiza eri Omwamoli, n'eri Omukiiti, n'eri Omuperizi, n'eri Omukanani, n'eri Omukiivi, n'eri Omuyebusi: nange ndibazikiriza. 24#Kuv 20:5; 34:13, Leev 18:3Tovuunamiranga bakatonda baabwe, so tobaweerezanga, so tokolanga ng'ebikolwa byabwe: naye olibasuulira ddala, era olimenyaamenya empagi zaabwe. 25#Ma 6:13; 7:13,15Era munaaweerezanga Mukama Katonda wammwe, naye aligiwa omukisa emmere yo n'amazzi go; nange ndiggyawo endwadde wakati wammwe. 26#Ma 7:14, Yob 5:26Tewaliba kirivaamu olubuto, newakubadde ekigumba, mu nsi yo: omuwendo gw'ennaku zo ndigutuukiriza. 27#Ma 2:25; 7:23Ndisindika entiisa yange mu maaso go, ndibateganya abantu bonna b'olituukako, ndikukyusiza amabega gaabwe abalabe bo bonna. 28#Ma 7:20Era ndisindika ennumba mu maaso go, eribagoba Omukiivi, n'Omukanani, n'Omukiiti, mu maaso go. 29#Ma 7:22Siribagoba mu maaso go mu mwaka ogumu; ensi ereme okuzika, so n'ensolo ey'omu nsiko ereme okweyongera ku ggwe. 30Katono katono ndibagoba mu maaso go, okutuusa lw'olyeyongera, n'osikira ensi. 31#Ma 11:24, Yos 21:44Era ndissaawo ensalo yo okuva ku Nnyanja Emmyufu okutuuka ku nnyanja ey'Abafirisuuti, n'okuva mu ddungu okutuuka ku Mugga: kubanga ndiwaayo mu mukono gwammwe abatudde mu nsi; naawe olibagoba mu maaso go. 32#Kuv 34:12,15, Ma 7:2,16, Zab 106:36Tolagaananga ndagaano nabo, so ne bakatonda baabwe. 33Tebatuulanga mu nsi yo, baleme okukwonoonya ku nze: kubanga bw'oliweereza bakatonda baabwe, tekirirema kukubeerera kyambika.
Currently Selected:
Okuva 23: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.