YouVersion Logo
Search Icon

Okuva 22

22
1 # 2 Sam 12:6, Luk 19:8 Omuntu bw'abbanga ente, oba endiga, n'amala agitta oba kugitunda; azzangawo ente ttaano olw'ente, n'endiga nnya olw'endiga. 2Omubbi bw'alabibwanga ng'asima n'akubibwa n'amala afa, tewabanga musango gwa musaayi ku lulwe. 3#Kuv 21:2, Mat 18:25Oba enjuba bw'eba ng'evuddeyo ku ye, wabanga omusango ogw'omusaayi ku lulwe: kimugwanidde okuliwa; oba nga talina kintu, atundibwanga olw'okubba kwe. 4Kye yabba bwe kirabikanga mu mukono gwe nga kikyali kiramu, oba nte, oba ndogoyi, oba ndiga; azzangawo bbiri.
5Omuntu bw'aliisanga olusuku oba nnimiro y'emizabbibu, bw'agirekanga ensolo ye n'erya ku lusuku olw'omuntu omulala; aliwanga ku by'olusuku lwe ebisinga, ne ku by'ennimiro ye ey'emizabbibu ebisinga.
6Omuliro bwe gwakanga ne gulinnya ku maggwa, emitwalo gy'eŋŋaano oba eŋŋaano ng'ekyamera oba nnimiro ne bimala bisiriira; akumanga omuliro, talemanga kuliwa.
7Omuntu bw'ateresanga munne effeeza oba bintu, ne bamala babibbira mu nnyumba ye; omubbi bw'anaalabikanga aliwanga emirundi ebiri. 8#Kuv 21:6, Ma 25:1Omubbi bw'atalabikanga, nannyini nnyumba asembereranga Katonda, okulaba oba nga teyateeka mukono gwe ku bintu bya munne. 9Kubanga buli kigambo eky'okwonoona, oba olw'ente, oba olw'endogoyi, oba olw'endiga, oba olw'engoye, oba olwa buli kibuze, omuntu ky'ayogerako nti Kye kino, ensonga ey'abo bombi ereetwanga eri Katonda; oli Katonda gw'asaliranga omusango aliwanga emirundi ebiri.
10Omuntu bw'ateresanga munne endogoyi, oba nte, ndiga, oba nsolo yonna; nayo n'emala efa, oba kufaafaagana, oba kugobebwa nga tewali muntu alaba: 11#Beb 6:16ekirayiro kya Mukama kibeeranga wakati waabwe bombi, oba nga teyateeka mukono gwe ku bintu bya munne; nannyiniyo akikkirizanga, so taliwanga. 12#Lub 31:39Naye bw'ebbibwanga ku ye, amuliyiranga nannyiniyo. 13Bw'etaagulwataagulwanga, agireetanga ebe omujulirwa; tamuliyiranga olw'etaaguddwa.
14Era omuntu bw'asabanga ekintu eri munne, ne kyonooneka, oba ne kifa, nga taliiwo nannyinikyo, talemanga kumuliyira. 15Nannyinikyo bw'abangawo, tamuliyiranga: bwe kibanga eky'empeera, nga kyajja lwa mpeera yaakyo olw'okupangisa.
16 # Ma 22:28,29 Era omuntu bw'asendasendanga omuwala omuto atannayogerezebwa n'amala amwonoona, talemanga kuliwa bintu eby'obuko ku lulwe alyoke abeere mukazi we. 17Kitaawe bw'anaaganiranga ddala okumumuwa, aliwanga ku muwendo ogw'okwogereza abawala abato.
18 # Leev 20:27, 1 Sam 28:3,9 Omukazi omulogo tomulekanga mulamu.
19 # Leev 20:15,16 Buli asulanga n'ensolo, talemanga kuttibwa.
20 # Ma 13:1-15; 17:2-5 Awangayo ssaddaaka eri Katonda yenna, wabula eri Mukama yekka, azikirizibwanga ddala. 21#Leev 19:33,34Era munnaggwanga tomwonoonanga, so tomukolanga bubi: kubanga mwali bannaggwanga mu nsi ey'e Misiri. 22#Ma 24:17, Is 1:17,23, Zek 7:10Buli nnamwandu ne mulekwa temubabonyaabonyanga. 23#Yob 34:28, Luk 18:7, Yak 5:4Bw'onoobabonyaabonyanga n'akatono, bwe banankaabiranga nze, siiremenga kuwulira kukaaba kwabwe; 24#Zab 109:9, Kung 5:3era obusungu bwange bulyaka nnyo, nange naabattanga n'ekitala; ne bakazi bammwe baliba bannamwandu, n'abaana bammwe bamulekwa.
25 # Leev 25:35-37, Ma 23:19,20, Nek 5:7 Bw'owolanga buli omu mu bantu bange ali naawe effeeza nga mwavu, tomubeereranga ng'omubanzi, so tomusaliranga magoba. 26#Ma 24:12,13, Ez 18:7,16, Am 2:8Bw'osingirwanga ekyambalo kya munno, omuddizangayo enjuba nga tennagwa: 27kubanga ekyo kye kimubikka kyokka, kye kyambalo kye eky'omubiri gwe: aneebikka ki? awo, bw'anankaabiranga, naawuliranga; kubanga nnina ekisa.
28 # Bik 23:5, Yud 8 Tovumanga Katonda, so tokolimiranga omukulu w'abantu bo. 29#Kuv 13:2Tolwanga kuwaayo ku bungi obw'ebibala byo n'envinnyo yo. Omubereberye mu baana bo omumpanga. 30#Leev 22:27, Ma 15:19Bw'otyo bw'onookolanga era n'ente zo, n'endiga zo: ennaku musanvu ebeeranga ne nnyina waayo; ku lunaku olw'omunaana ogimpanga nze. 31#Kuv 19:6, Leev 22:8, Ez 4:14Era munaabanga abantu abatukuvu gye ndi: kyemunaavanga mulema okulya ku nnyama ensolo gye zisse mu nsiko; mugisuuliranga embwa.

Currently Selected:

Okuva 22: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in