YouVersion Logo
Search Icon

Okuva 24

24
1 # Kuv 6:23, Kubal 11:16 N'agamba Musa nti Linnya eri Mukama, ggwe ne Alooni, Nadabu, ne Abiku, n'ensanvu ey'abakadde ba Isiraeri; era musinzize wala: 2Musa yekka asemberere Mukama; naye bo baleme okusembera; so abantu baleme okulinnya awamu naye. 3#Kuv 19:8; 21:1Musa n'ajja n'agamba abantu ebigambo byonna ebya Mukama, n'emisango gyonna: abantu bonna ne baddamu n'eddoboozi limu, ne boogera nti Ebigambo byonna Mukama by'ayogedde tulibikola. 4#Lub 28:18; 31:45, Ma 31:9Musa n'awandiika ebigambo byonna ebya Mukama, n'agolokoka enkya mu makya, n'azimba ekyoto wansi w'olusozi, n'empagi kkumi na bbiri, ng'ebika ekkumi n'ebibiri ebya Isiraeri. 5N'atuma abavubuka ab'abaana ba Isiraeri, ne bookya ebyokwokya, ne bawaayo ebiweebwayo olw'emirembe eby'ente eri Mukama. 6#Beb 9:18Musa n'atwala ekitundu ky'omusaayi, n'akifuka mu bibya; n'ekitundu ky'omusaayi, n'akimansira ku kyoto. 7N'atoola ekitabo eky'endagaano, n'asoma mu matu g'abantu: ne boogera nti Byonna Mukama by'ayogedde tulibikola, era tuliwulira. 8#Mat 26:28, Mak 14:24, Beb 9:19,20, 1 Peet 1:2Musa n'atoola omusaayi, n'agumansira ku bantu, n'ayogera nti Laba omusaayi ogw'endagaano, Mukama gy'alagaanye nammwe mu bigambo bino byonna. 9Musa n'alyoka alinnya, ne Alooni, Nadabu, ne Abiku, n'ensanvu ey'abakadde ba Isiraeri: 10#Lub 32:30, Kuv 3:6; 33:20,23, Is 6:1,5, Ez 1:26; 10:1, Yok 1:18, 1 Tim 6:16, 1 Yok 4:12ne balaba Katonda wa Isiraeri; ne wansi w'ebigere bye ne waba ng'omulimu ogw'amayinja amaaliire aga safiro, agafaanana ng'eggulu lyennyini okutangaala. 11So ku bakungu b'abaana ba Isiraeri n'atateekako mukono gwe: ne bamulaba Katonda ne balya ne banywa.
12 # Kuv 31:18; 32:15,16, Ma 9:10,11, 2 Kol 3:3 Mukama n'agamba Musa nti Linnya gye ndi ku lusozi, obeereyo: nange ndikuwa ebipande by'amayinja, n'amateeka n'ekiragiro, bye mpandiise, obiyigirize. 13Musa n'agolokoka ne Yoswa omuweereza we: Musa n'alinnya ku lusozi lwa Katonda. 14N'agamba abakadde nti Mutulindirire wano, okutuusa lwe tulibajjira nate: ne Alooni ne Kuuli, laba, bali wamu nammwe: buli alina ensonga, asemberere bo. 15#Kuv 19:9,16, Mat 17:5Musa n'alinnya ku lusozi, ekire ne kibikka olusozi. 16#Kuv 16:10, Kubal 14:10; 16:42Ekitiibwa kya Mukama ne kibeera ku lusozi Sinaayi, ekire ne kirubikkira ennaku mukaaga: ku lunaku olw'omusanvu n'ayita Musa ng'ayima wakati w'ekire. 17#Kuv 3:2, Ma 4:36, Beb 12:18,29Ekifaananyi ky'ekitiibwa kya Mukama ne kiba ng'omuliro ogwaka ku ntikko y'olusozi mu maaso g'abaana ba Isiraeri. 18#Kuv 34:28Musa n'ayingira wakati mu kire, n'alinnya ku lusozi: Musa n'amala ku lusozi ennaku amakumi ana emisana n'ekiro.

Currently Selected:

Okuva 24: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in