1
Okuva 23:25-26
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
Era munaaweerezanga Mukama Katonda wammwe, naye aligiwa omukisa emmere yo n'amazzi go; nange ndiggyawo endwadde wakati wammwe. Tewaliba kirivaamu olubuto, newakubadde ekigumba, mu nsi yo: omuwendo gw'ennaku zo ndigutuukiriza.
Compare
Explore Okuva 23:25-26
2
Okuva 23:20
Laba, ntuma malayika mu maaso go, akukuume mu kkubo, akuleete mu kifo kye nnateekateeka.
Explore Okuva 23:20
3
Okuva 23:22
Naye bw'onoowuliriranga ddala eddoboozi lye, n'okolanga byonna bye njogera; bwe kityo naababeereranga omulabe abalabe bo, ndibaziyiza abakuziyiza.
Explore Okuva 23:22
4
Okuva 23:2-3
Togobereranga bangi okukola obubi; so toyogeranga mu nsonga okyame eri abangi okukyusa omusango; so tomusalirizanga omwavu mu nsonga ye.
Explore Okuva 23:2-3
5
Okuva 23:1
Tokkirizanga kigambo kya bulimba: toteekanga mukono gwo awamu n'abatali batuukirivu okubeera omujulirwa ow'obulimba.
Explore Okuva 23:1