Okuva 16
16
1Ne bava Erimu nga batambula, ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri ne batuuka mu ddungu lya Sini, eriri wakati wa Erimu ne Sinaayi, ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogw'okubiri nga bamaze okuva mu nsi ey'e Misiri. 2#Kuv 15:24, Zab 106:25, 1 Kol 10:10Ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri ne beemulugunyiza Musa ne Alooni mu ddungu: 3#Kubal 11:4,5; 20:3,4, Ma 8:3abaana ba Isiraeri ne babagamba nti Waakiri twandifiiridde olw'omukono gwa Mukama mu nsi ey'e Misiri, bwe twali tutudde awali entamu ez'ennyama, bwe twali tulya emmere nga tukkuta; kubanga mwatufulumya mu ddungu lino, okutta ekibiina kino kyonna n'enjala. 4#Kuv 15:25, Zab 78:24; 105:40, Yok 6:31, 1 Kol 10:3Mukama n'alyoka agamba Musa nti Laba, nditonnyesa emmere okuva mu ggulu ku lwammwe; n'abantu balifuluma okukuŋŋaanya ekitundu eky'olunaku buli lunaku, ndyoke mbakeme nga banaatambuliranga mu mateeka gange oba tebaatambulirengamu. 5Awo olunaatuukanga ku lunaku olw'omukaaga banaateekateekanga gye baliyingiza, era eneesinganga emirundi ebiri gye bakuŋŋaanya buli lunaku. 6#Kuv 7:7Musa ne Alooni ne bagamba abaana ba Isiraeri bonna nti Olweggulo lwe mulimanya nga Mukama ye yabaggya mu nsi ey'e Misiri: 7#Kubal 16:19era enkya lwe muliraba ekitiibwa kya Mukama; kubanga awulidde okwemulugunya kwammwe ku Mukama: naffe ffe baani, n'okwemulugunya ne mwemulugunyiza ffe? 8Musa n'ayogera nti Kino kinaabaawo, Mukama bw'anaabawa olweggulo ennyama okulya, n'enkya emmere okukkuta; kubanga Mukama awulidde okwemulugunya kwammwe kwe mumwemulugunyiza: naffe ffe baani? Temwemulugunyiza ffe, wabula Mukama. 9Musa n'agamba Alooni nti Bagambe ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri nti Musembere mu maaso ga Mukama: kubanga awulidde okwemulugunya kwammwe. 10Awo, Alooni bwe yali ng'ayogera n'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, ne batunuulira mu ddungu; laba, ekitiibwa kya Mukama ne kirabika mu kire. 11Mukama n'amugamba Musa, ng'ayogera nti 12#Kubal 14:27Mpulidde okwemulugunya kw'abaana ba Isiraeri: obagambe, ng'oyogera nti Olweggulo munaalya ennyama, n'enkya munakkuta emmere; nammwe munaamanya nga nze Mukama Katonda wammwe. 13#Kubal 11:9,31, Zab 105:40Awo olweggulo obugubi ne bulyoka bulinnya ne busaanikira olusiisira: enkya olufu ne lugwa ne lwetooloola olusiisira. 14Olufu olwagwa bwe lwaggwaako, laba, ne wabaawo kungulu w'eddungu akantu akatono akeekulungirivu, akatono ng'omusulo omukwafu oguba ku nsi. 15#Yok 6:31,49, 1 Kol 10:3Abaana ba Isiraeri bwe baakiraba ne bagambagana bokka na bokka nti Kiki kino? kubanga tebaamanya bwe kyali. Musa n'abagamba nti Eyo ye mmere Mukama gy'abawadde okulya. 16#Kuv 16:36Ekyo kye kigambo ky'alagidde Mukama nti Mukuŋŋaanyeeko buli muntu nga bw'alya; buli muntu kkomero emu, ng'omuwendo gw'abantu bammwe bwe guli, mulikitwala, buli muntu alibatwalira ab'omu weema ye. 17Abaana ba Isiraeri ne bakola bwe batyo, ne bakuŋŋaanya abalala nnyingi, abalala ntono. 18Awo bwe baageranga mu kkomero, eyakuŋŋaanya ennyingi n'atafissaawo, era eyakuŋŋaanya entono n'ateetaaga; baakuŋŋaanya buli muntu nga bw'alya. 19#2 Kol 8:15Musa n'abagamba nti Omuntu talekaawo okutuusa enkya. 20Naye Musa ne batamuwulira; naye abamu mu bo ne balekawo okutuusa enkya, n'ezaala envunyu, n'ewunya: Musa n'abakwatirwa obusungu. 21Ne bakuŋŋaanya buli nkya, buli muntu nga bw'alya: era omusana bwe gwayakanga n'ekereketa. 22Awo olunaku olw'omukaaga bwe lwatuukanga, ne bakuŋŋaanya emirundi ebiri emmere, buli muntu kkomeri bbiri: abakulu bonna ab'ekibiina ne bajja ne bamugamba Musa. 23#Lub 2:3, Kuv 20:8-11; 31:15; 35:2,3, Leev 23:3N'abagamba nti Ekyo Mukama kye yayogera nti Enkya kye kiwummulo ekikulu, ssabbiiti entukuvu eri Mukama: mwokye bye mwagala okwokya, mufumbe bye mwagala okufumba; yonna esigalawo mweterekere ensibo okutuusa enkya. 24Ne beeterekera okutuusa enkya, Musa nga bwe yalagira: n'etewunya, so ne mutaba na nvunyu. 25Musa n'ayogera nti Mulye eno leero; kubanga leero ye ssabbiiti eri Mukama; leero temuugirabe mu ttale. 26Mukuŋŋaanye mu nnaku mukaaga; naye ku lunaku olw'omusanvu ye ssabbiiti, okwo teribeerawo. 27#Kubal 14:27Awo ku lunaku olw'omusanvu ne bagenda abamu ku bantu okukuŋŋaanya, ne batagiraba. 28#Zab 78:10Mukama n'amugamba Musa nti Mulituusa wa okugaana okukwata amateeka gange n'ebiragiro byange? 29Mulabe, kubanga Mukama abawadde ssabbiiti, kyava abawa ku lunaku olw'omukaaga emmere ey'ennaku ebbiri; mutuule buli muntu mu kifo kye, tavanga omuntu yenna mu kifo kye ku lunaku olw'omusanvu. 30Ne bawummulanga abantu ku lunaku olw'omusanvu. 31#Kubal 11:7,8Ennyumba ya Isiraeri ne bagiyita erinnya lyayo Manu: n'efaanana ng'ensigo za jada, enjeru; n'obuwoomerevu bwayo bufaanana ng'emigaati egy'omubisi gw'enjuki. 32Musa n'ayogera nti Ekyo kye kigambo Mukama kye yalagira nti Kkomero ejjudde eterekerwe emirembe gyammwe; balyoke balabe emmere gye nnabaliisa mu ddungu bwe nnabaggya mu nsi ey'e Misiri. 33#Beb 9:4Musa n'amugamba Alooni nti Twala ekibya osse munda kkomero ejjudde manu, okiteeke mu maaso ga Mukama, ensibo y'emirembe gyammwe. 34#Kuv 25:16,21; 40:20, Kubal 17:10Nga Mukama bwe yalagira Musa, bw'atyo Alooni n'akiteeka mu maaso g'obujulirwa, okubeera ensibo. 35#Ma 8:2,3, Yos 5:12, 1 Kol 10:3Abaana ba Isiraeri ne baliira manu emyaka amakumi ana, okutuusa lwe baatuuka mu nsi ey'abantu; ne balya manu okutuuka mu nsalo ez'ensi ya Kanani. 36Era kkomero kye kitundu eky'ekkumi ekya efa.
Currently Selected:
Okuva 16: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.