Okuva 15
15
1 #
Zab 106:12
Musa n'abaana ba Isiraeri ne balyoka bamuyimbira Mukama oluyimba luno ne boogera nti
Ndimuyimbira Mukama, kubanga yawangulidde ddala:
Embalaasi n'omwebagazi waayo yabisudde mu nnyanga.
2 #
Kuv 3:6, 2 Sam 22:47, Zab 99:5; 118:14, Is 12:2 Mukama ge maanyi gange, era lwe luyimba lwange,
Anfuukidde obulokozi bwange:
Ono ye Katonda wange, nange ndimutendereza;
Ye Katonda wa kitange, nange ndimugulumiza.
3 #
Kuv 3:15, Zab 83:18, Kub 19:11 Mukama ye muzira okulwana:
Mukama lye linnya lye,
4Amagaali ga Falaawo n'eggye lye yabisudde mu nnyanja:
N'abakungu be be yalonda basaanyeewo mu Nnyanja Emmyufu.
5Obuziba bubasaanikidde:
Basse mu buziba ng'ejjinja.
6 #
Zab 2:9; 118:15,16 Omukono gwo ogwa ddyo, Mukama, gulina ekitiibwa mu maanyi,
Omukono gwo ogwa ddyo, Mukama, gubetenta omulabe.
7 #
Ma 33:26, Zab 59:13, Mal 4:1 Era mu bukulu obw'okusinga kwo obasuula abakulumba:
Otuma obusungu bwo, ne bubasiriiza ng'ebisasiro.
8 #
Zab 18:15; 78:13 Era n'omukka ogw'omu nnyindo zo amazzi gaalinnyisibwa.
Ebitaba ne biyimirira entuumo;
Obuziba ne bukwata mu mutima ogw'ennyanja.
9Omulabe n'ayogera nti
Naagoberera, naatuuka, naagereka omunyago:
Okwegomba kwange kunakkusibwa ku bo;
Naasowola ekitala kyange, omukono gwange gulibazikiriza.
10Wakunsa omuyaga gwo, ennyanja n'ebasaanikira:
Baasaanawo nga lisasi mu mazzi ag'amaanyi.
11 #
2 Sam 7:22, 1 Bassek 8:23, Zab 77:14; 86:8, Yer 10:6 Ani afaanana nga ggwe, Mukama, mu bakatonda?
Ani afaanana nga ggwe alina ekitiibwa mu butukuvu,
Ow'entiisa mu kutenderezebwa, akola amagero?
12Wagolola omukono gwo ogwa ddyo,
Ensi n'ebamira.
13 #
Zab 77:15; 78:54 Ggwe mu kisa kyo wabakulembera abantu be wanunula:
N'obaleeta mu maanyi go okutuuka mu kifo kyo ekitukuvu.
14 #
Ma 2:25, Zab 48:6 Amawanga gaawulira, ne gakankana:
Obulumi bwabakwata abatuula mu Bufirisuuti.
15 #
Kubal 22:3, Yos 2:9 Abakungu ab'omu Edomu ne balyoka beewuunya;
Ab'amaanyi ab'omu Mowaabu, okukankana kubakwata:
Abatuula mu Bukanani bonna bayenjebuka.
16 #
Ma 11:25, 1 Sam 25:37, Zab 74:2 Okutekemuka n'entiisa bibaguddeko;
Mu bukulu obw'omukono gwo batudde ng'ejjinja;
Okutuusa abantu bo lwe balisomoka, Mukama,
Okutuusa abantu lwe balisomoka be weefunira.
17 #
Zab 44:2; 80:8 Olibayingiza, olibasimba ku lusozi olw'obusika bwo,
Ekifo kye weerongooseza, Mukama, okutuula omwo,
Awatukuvu wo, Mukama, emikono gyo we gyanyweza.
18 #
Zab 146:10
Mukama alifuga emirembe n'emirembe.
19Kubanga embalaasi za Falaawo ne ziyingira wamu n'amagaali ge n'abeebagala mu nnyanja, Mukama n'azzaawo amazzi ag'omu nnyanja ku bo; naye abaana ba Isiraeri ne batambula ku lukalu wakati mu nnyanja. 20#Balam 11:34, Kubal 26:59, 1 Sam 18:6, Zab 68:25Miryamu, nabbi, mwannyina Alooni, n'atwala ensaasi mu mukono gwe; abakazi bonna ne bafuluma ne bamugoberera nga balina ensaasi nga bazina. 21#1 Sam 18:7Miryamu n'abaddamu nti
Muyimbire Mukama, kubanga yawangulidde ddala;
Embalaasi n'omwebagazi waayo yabisudde mu nnyanja.
22Musa n'atambuza Isiraeri okuva ku Nnyanja Emmyufu, ne bavaamu ne batuuka mu ddungu lya Ssuuli; ne bagenda ennaku ssatu mu ddungu ne batalaba mazzi. 23#Kubal 33:8, Luus 1:20Bwe baatuuka e Mala, ne batayinza kunywa ku mazzi ge Mala, kubanga gaali gakaawa: kyekyava kiyitibwa erinnya lyakyo Mala. 24Abantu ne bamwemulugunyiza Musa, nga boogera nti Tunaanywa ki? 25#Kuv 16:4; 20:20, Ma 8:2,16, Balam 2:22; 3:1,4, 2 Bassek 2:21; 4:41, Zab 66:10; 81:7N'akaabira Mukama; Mukama n'amulaga omuti, n'agusuula mu mazzi, amazzi ne gafuuka amalungi. Awo we yabalagirira etteeka n'empisa, n'abakemera awo; 26#Kuv 23:25, Zab 103:3, Ma 7:15; 28:27n'ayogera nti Oba nga oliwulira nnyo eddoboozi lya Mukama Katonda wo, n'okola obutuukirivu mu maaso ge, n'owulira amateeka ge, n'okwata by'alagira byonna, sirikuteekako ggwe endwadde zonna ze nnateeka ku Bamisiri: kubanga nze Mukama akuwonya.
27 #
Kubal 33:9
Ne batuuka Erimu, awali ensulo z'amazzi ekkumi n'ebbiri, n'enkindu ensanvu: ne basula awo awali amazzi.
Currently Selected:
Okuva 15: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.