YouVersion Logo
Search Icon

Okuva 17

17
1 # Kubal 33:12,14 Ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri ne batambula okuva mu ddungu lya Sini, mu bisulo byabwe, mu kiragiro kya Mukama, ne basula mu Lefidimu; so nga tewali mazzi abantu banywe. 2#Kubal 20:3, Ma 6:16, Zab 78:41; 95:8,9, Is 7:12, Mat 4:7, 1 Kol 10:9Abantu kyebaava bamuyombesa Musa, ne boogera nti Tuwe amazzi tunywe. Musa n'abagamba nti Lwaki okunnyombesa nze? Lwaki okumukema Mukama? 3#Kuv 16:2Abantu ne baba n'ennyonta eyo ey'amazzi, abantu ne bamwemulugunyiza Musa, ne boogera nti Lwaki watuggya e Misiri, okututta ffe n'abaana baffe n'ebisibo byaffe n'ennyonta? 4#Kubal 14:10, 1 Sam 30:6Musa n'amukaabirira Mukama ng'ayogera nti Naabakola ntya abantu bano? babulako katono bankube amayinja. 5#Kuv 7:19,20Mukama n'amugamba Musa nti Yita mu maaso g'abantu, otwale wamu naawe ku bakadde ba Isiraeri; n'omuggo gwo, gwe wakubya omugga, ogukwate mu mukono gwo, ogende. 6#Zab 105:41; 114:8, 1 Kol 10:4Laba nze naayimirira mu maaso go eyo ku lwazi ku Kolebu; naawe onookuba olwazi, amazzi ganaavaamu, abantu banywe. N'akola bw'atyo Musa mu maaso g'abakadde ba Isiraeri. 7N'atuuma ekifo erinnya lyakyo Masa ne Meriba, olw'okuyomba kw'abaana ba Isiraeri, n'okuba nga baakema Mukama, nga boogera nti Mukama ali mu ffe nantiki?
8 # Ma 25:17,18, 1 Sam 15:2 Abamaleki ne bajja, ne balwanyisa Isiraeri mu Lefidimu. 9#Kuv 4:17Musa n'agamba Yoswa nti Otulondere abantu, ogende, olwane n'Abamaleki: enkya naayimirira ku ntikko y'olusozi, omuggo gwa Katonda nga guli mu mukono gwange. 10#Kuv 24:14N'akola bwatyo Yoswa nga bwe yamulagira Musa, n'alwana n'Abamaleki: Musa ne Alooni ne Kuli ne balinnya ku ntikko y'olusozi. 11Awo olwatuuka Musa bwe yayimusa omukono gwe, Isiraeri n'agoba: bwe yagussa omukono gwe, Abamaleki ne bagoba. 12Naye emikono gya Musa ne gitendewererwa; ne batwala ejjinja ne baliteeka wansi we, n'alituulako; Alooni ne Kuli ne bawanirira emikono gye, omu eruuyi n'omu eruuyi; emikono gye ne ginywera okutuusa enjuba okugwa. 13Yoswa n'asuula Amaleki n'abantu be n'obwogi bw'ekitala. 14#Ma 15:19, 1 Sam 15:3; 30:1, 2 Sam 8:12Mukama n'agamba Musa nti Wandiika ekyo mu kitabo okubeera ekijjukizo okibuulire Yoswa mu matu ge: nga ndisangulira ddala okujjukirwa kwa Amaleki wansi w'eggulu. 15#Balam 6:24Musa n'azimba ekyoto, n'akituuma erinnya lyakyo Yakuwa bendera yange: 16n'ayogera nti Mukama alayidde: Mukama alirwana ne Amaleki emirembe n'emirembe.

Currently Selected:

Okuva 17: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in