abaana ba Isiraeri ne babagamba nti Waakiri twandifiiridde olw'omukono gwa Mukama mu nsi ey'e Misiri, bwe twali tutudde awali entamu ez'ennyama, bwe twali tulya emmere nga tukkuta; kubanga mwatufulumya mu ddungu lino, okutta ekibiina kino kyonna n'enjala. Mukama n'alyoka agamba Musa nti Laba, nditonnyesa emmere okuva mu ggulu ku lwammwe; n'abantu balifuluma okukuŋŋaanya ekitundu eky'olunaku buli lunaku, ndyoke mbakeme nga banaatambuliranga mu mateeka gange oba tebaatambulirengamu.