YouVersion Logo
Search Icon

Abaefeso 2

2
1 # 1 Kol 1:21; 2:13 Era nammwe yabazuukiza bwe mwali nga mufiiridde mu byonoono n'ebibi byammwe, 2#Bef 6:12, Tit 3:3, Yok 12:31, Bak 1:13bye mwatambulirangamu edda ng'emirembe egy'ensi eno bwe giri, okugobereranga omukulu w'obuyinza obw'omu bbanga, omwoyo ogukoza kaakano mu baana abatawulira; 3#Bak 3:6era naffe fenna be twatambulirangamu edda mu kwegomba kw'omubiri gwaffe, nga tukolanga omubiri n'ebirowoozo bye byagala, ne tubeeranga olw'obuzaaliranwa abaana b'obusungu, nga n'abalala: 4naye Katonda, kubanga ye mugagga w'ekisa, olw'okwagala kwe okungi kwe yatwagala ffe, 5#Luk 15:24,32, Bef 5:14, Bar 6:13era ffe bwe twali nga tufiiridde mu byonoono byaffe, yatufuula abalamu awamu ne Kristo (mwalokoka lwa kisa), 6#Bar 8:10, Baf 3:20n'atuzuukiza wamu naye, n'atutuuza wamu mu bifo eby'omu ggulu mu Kristo Yesu: 7#Bef 1:7mu mirembe egigenda okujja alyoke alage obugagga obusinga ennyo obw'ekisa kye mu bulungi obuli gye tuli mu Kristo Yesu: 8#Bag 2:16kubanga mwalokoka lwa kisa lwa kukkiriza; so tekwava gye muli: kye kirabo kya Katonda: 9#1 Kol 1:29tekwava mu bikolwa, omuntu yenna aleme okwenyumirizanga. 10#Tit 2:14Kubanga ffe tuli mulimu gwe, abaatonderwa mu Kristo Yesu olw'ebikolwa ebirungi, Katonda bye yasooka okuteekateeka ffe okubitambulirangamu.
11 # Bef 5:8 Kale mujjukire ng'edda mmwe, abaali ab'amawanga mu mubiri, Abakomole be bayita Abataakomolebwa, mu mubiri okukolebwa n'emikono; 12#Bar 9:4, 1 Bas 4:13nga mu biro biri mwali nga muli wala ne Kristo, mwali nga mubooleddwa mu kika kya Isiraeri, era mwali bannaggwanga eri endagaano ez'okusuubiza, nga temulina kusuubira, nga temulina Katonda mu nsi. 13#Is 57:19; 52:7, Bak 1:20Naye kaakano mu Kristo Yesu mmwe abaali ewala edda musembezebwa olw'omusaayi gwa Kristo. 14#Is 9:6, Bag 3:28, Bak 2:14Kubanga ye gye mirembe gyaffe, eyafuula byombi ekimu, n'amenyawo ekisenge ekya wakati ekyawula, 15#2 Kol 5:17, 1 Kol 1:21; 2:13bwe yamala okuggyawo mu mubiri gwe obulabe, tawuleti ey'ebiragiro ebiri mu mateeka; alyoke atonde mu ye yennyini abo bombi okubeera omuntu omu omuggya, okuleeta emirembe; 16era alyoke atabaganye bombi eri Katonda mu mubiri gumu olw'omusalaba, bwe yattira obulabe ku gwo: 17n'ajja n'ababuulira enjiri ey'emirembe mmwe abaali ewala, n'emirembe abaali okumpi: 18kubanga ku bw'oyo ffe fembi tulina okusembera kwaffe eri Kitaffe mu Mwoyo omu. 19#Bef 3:6, Beb 12:22,23Kale bwe mutyo temukyaali bannaggwanga na bayise, naye muli ba kika kimu n'abatukuvu, era ba mu nnyumba ya Katonda. 20#Mat 16:18, Is 28:16Kubanga mwazimbibwa ku musingi be batume ne bannabbi, Kristo Yesu yennyini bw'ali ejjinja eddene ery'oku nsonda; 21#Bak 2:19mu oyo buli nnyumba yonna, bw'egattibwa obulungi, ekula okubeeranga yeekaalu entukuvu mu Mukama waffe; 22#1 Peet 2:5mu oyo era nammwe muzimbibwa wamu okubeeranga ekisulo kya Katonda mu Mwoyo.

Currently Selected:

Abaefeso 2: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy