nga mumulisibwanga amaaso ag'omutima gwammwe, mmwe okumanya essuubi ery'okuyita kwe bwe liri, obugagga obw'ekitiibwa eky'obusika bwe mu batukuvu bwe buli, era obukulu obusinga ennyo obw'amaanyi ge eri ffe abakkiriza bwe buli, ng'obuyinza bw'amaanyi ge bwe bukola, ge yakoza mu Kristo, bwe yamuzuukiza mu bafu, n'amutuuza ku mukono gwe ogwa ddyo mu bifo eby'omu ggulu, waggulu nnyo okusinga okufuga kwonna n'obuyinza n'amaanyi n'obwami na buli linnya eryatulwa si mu mirembe gino gyokka naye ne mu egyo egigenda okujja