YouVersion Logo
Search Icon

2 Abasessaloniika 1

1
1 # 1 Bas 1:1 Pawulo ne Sirwano ne Timoseewo eri ekkanisa ey'Abasessaloniika mu Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo; 2#Bar 1:7ekisa kibeerenga gye muli n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo.
3 # 1 Bas 1:2,3, 2 Bas 2:13 Kitugwanidde okwebazanga Katonda ennaku zonna ku lwammwe, ab'oluganda, nga bwe kisaana, kubanga okukkiriza kwammwe kukula nnyo, n'okwagalana kwa buli muntu ku mmwe mwenna mwekka na mwekka kweyongera; 4#2 Kol 7:4, Kub 1:9, 1 Bas 2:19; 3:2,7naffe bennyini n'okwenyumiriza ne twenyumiririzanga mu mmwe mu kkanisa za Katonda olw'okugumiikiriza kwammwe n'okukkiriza mu kuyigganyizibwa kwammwe kwonna n'okubonaabona kwe muzibiikiriza; 5#1 Bas 2:12, Baf 1:28, Luk 20:35ebyo ke kabonero k'omusango gwa Katonda ogw'ensonga; mulyoke musaanyizibwe obwakabaka bwa Katonda, n'okubonaabona bwe mubonaabonera: 6#Kub 18:6,7, Bar 12:19oba nga kya nsonga eri Katonda okubasasula okubonaabona abababonyaabonya, 7#Mat 25:31, 1 Bas 3:13; 4:16era nammwe ababonyaabonyezebwa okubasasula okwesiima awamu naffe, mu kubikkulibwa kwa Mukama waffe Yesu okuva mu ggulu awamu ne bamalayika ab'obuyinza bwe, 8#Bar 2:8, Is 66:15, Yer 10:25, Zab 79:6, 1 Peet 4:17mu muliro ogwaka, ng'awalana eggwanga abatamanyi Katonda, n'abo abatagondera njiri ya Mukama waffe Yesu: 9#Is 2:10,19,21abalibonerezebwa, kwe kuzikirira emirembe n'emirembe okuva mu maaso ga Mukama waffe ne mu kitiibwa ky'amaanyi ge, 10#1 Bas 3:13, Bak 3:4, Zab 89:7; 69:36, Is 49:3; 2:11,17bw'alijja okuweebwa ekitiibwa mu batukuvu be, n'okwewuunyizibwa mu bonna abakkiriza (kubanga okutegeeza kwaffe gye muli kwakkirizibwa) ku lunaku luli. 11#1 Bas 1:2,3Kyetuva tubasabira ennaku zonna, Katonda waffe abasaanyize okuyitibwa kwammwe, era atuukirize n'amaanyi buli kye mwagala eky'obulungi na buli mulimu ogw'okukkiriza; 12#Is 24:15; 66:5, Mal 1:11erinnya lya Mukama waffe Yesu liryoke liweebwe ekitiibwa mu mmwe, era nammwe mu ye ng'ekisa kya Katonda waffe ne Mukama waffe Yesu Kristo bwe kiri.

Currently Selected:

2 Abasessaloniika 1: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy