1 Abasessaloniika 5
5
1 #
Mat 24:36
Naye eby'entuuko n'ebiro, ab'oluganda, temwetaaga kubiwandiikirwa. 2#Mat 24:42-44, 2 Peet 3:10, Kub 3:3; 16:15Kubanga mwekka mumanyidde ddala ng'olunaku lwa Mukama waffe lujja ng'omubbi ekiro, bwe lutyo. 3#Yer 6:14, Yok 16:21,22, Mat 24:39, Luk 21:34,35Bwe baliba nga boogera nti Mirembe, siwali kabi, okuzikiriza okw'amangu ne kulyoka kubajjira, ng'okulumwa bwe kujjira omukazi ali olubuto; so tebaliwona n'akatono. 4Naye mmwe, ab'oluganda, temuli mu kizikiza, olunaku luli okubasisinkaniriza ng'omubbi: 5#Bar 13:12, Bef 5:9kubanga mmwe mwenna muli baana ba kutangaala, era muli baana ba musana: tetuli ba kiro newakubadde ab'ekizikiza; 6kale nno tulemenga okwebaka ng'abalala, naye tutunulenga tulemenga okutamiira. 7Kubanga abeebaka beebaka kiro; n'abatamiira batamiira kiro. 8#Bef 6:14-17, Is 59:17Naye ffe, kubanga tuli ba musana, tulemenga okutamiira, nga twambadde eky'omu kifuba eky'okukkiriza n'okwagala, n'enkuufiira, essuubi ly'obulokozi. 9#1 Bas 1:10, 2 Bas 2:14Kubanga ffe Katonda teyatuteekerawo busungu, wabula okuweebwa obulokozi ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo, 10#1 Bas 4:14, Bar 14:8,9eyatufiirira ffe, bwe tutunula oba bwe twebaka tulyoke tubeere abalamu wamu naye. 11#Yud 20Kale musanyusaganenga, era muzimbaganenga buli muntu munne, era nga bwe mukola.
12 #
1 Kol 16:18, 1 Tim 5:17 Naye tubeegayirira, ab'oluganda, okumanyanga abafuba okukola emirimu mu mmwe, ababafuga mu Mukama waffe, abababuulirira; 13n'okubassangamu ekitiibwa ennyo nnyini mu kwagala olw'omulimu gwabwe. Mubeerenga n'emirembe mu mmwe. 14#2 Bas 3:6,11,14,15Era tubabuulirira, ab'oluganda, munenyenga abatatambula bulungi, mugumyenga abalina omwoyo omunafu, muyambenga abatalina maanyi, mugumiikirizenga eri bonna. 15#Nge 20:22, Bar 12:17, 1 Peet 3:9Mulabe omuntu yenna alemenga okuwalana ekibi olw'ekibi; naye ennaku zonna mugobererenga ekirungi mwekka na mwekka n'eri bonna. 16#Baf 4:4Musanyukenga ennaku zonna; 17#Luk 18:1, Bar 12:12, Bak 4:2musabenga obutayosa; 18#Bef 5:20mwebazenga mu kigambo kyonna kyonna: kubanga ekyo Katonda ky'abaagaliza mu Kristo Yesu gye muli. 19#1 Kol 14:1,29,30,39Temuzikizanga Mwoyo; 20temunyoomanga bunnabbi; 21#1 Yok 4:1mugezengako ku bigambo byonna; munywerezenga ddala ekirungi; 22#Yob 1:1,8; 2:3mwewalenga buli ngeri ya bubi.
23 #
2 Bas 3:16
Era Katonda ow'emirembe yennyini abatukulize ddala; era omwoyo gwammwe n'obulamu n'omubiri byonna awamu bikuumibwenga awatali kunenyezebwa mu kujja kwa Mukama waffe Yesu Kristo. 24#1 Kol 1:9, 2 Bas 3:3Abayita mwesigwa, n'okukola ye alikola.
25 #
2 Bas 3:1
Ab'oluganda, mutusabirenga.
26 #
1 Kol 16:20
Mulamuse ab'oluganda bonna n'okunywegera okutukuvu. 27Mbalayiza Mukama waffe okusomera ebbaluwa eno ab'oluganda bonna.
28Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga wamu nammwe.
Currently Selected:
1 Abasessaloniika 5: LUG68
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.