YouVersion Logo
Search Icon

2 Abasessaloniika 2

2
1 # 1 Bas 4:13-17 Naye tubeegayirira, ab'oluganda, olw'okujja kwa Mukama waffe Yesu Kristo n'olw'okukuŋŋaana kwaffe gy'ali; 2obutasagaasagana mangu mu magezi gammwe, newakubadde okweraliikirira newakubadde olw'omwoyo, newakubadde olw'ebbaluwa efaanana ng'evudde gye tuli, nti olunaku lwa Mukama waffe lutuuse; 3#1 Tim 4:1, Yok 17:12, 1 Yok 2:18; 4:3omuntu yenna tabalimbanga mu kigambo kyonna kyonna: kubanga olunaku olwo terulijja wabula ng'okwawukana kuli kumaze kubaawo, era omuntu oli ow'okwonoona nga alimala okubikkulwa, omwana w'okuzikirira, 4#Dan 11:36, Ez 28:2aziyiza era eyeegulumiza okusinga buli kintu ekiyitibwa Katonda oba ekisinzibwa, n'okutuula n'atuula mu yeekaalu ya Katonda, nga yeeraga yekka nti ye Katonda. 5Temujjukira, nga bwe nnali nga nkyali gye muli, nababuulira ebyo? 6Era ne kaakano ekirobera mukimanyi, alyoke abikkuke mu ntuuko ze. 7#Bik 20:29Kubanga ne kaakano ekyama eky'obujeemu weekiri kikola: wabula kyokka aziyiza kaakano okutuusa lw'aliggibwawo. 8#Is 11:4, Yob 4:9, Kub 19:15,20Awo omujeemi oli n'alyoka abikkuka, Mukama waffe Yesu gw'alitta n'omukka ogw'omu kamwa ke, era gw'alizikiriza n'okulabisibwa kw'okujja kwe; 9#Mat 24:24, Kub 13:11-13naye okujja kw'oyo kuli mu kukola kwa Setaani n'amaanyi gonna n'obubonero n'eby'amagero eby'obulimba, 10#2 Kol 2:15; 4:3n'okukyamya kwonna okutali kwa butuukirivu eri abo ababula; kubanga tebakkiriza kwagala mazima, balyoke balokoke. 11#2 Tim 4:4Katonda kyava abasindikira okukyamya okukola, bakkirize eby'obulimba: 12bonna balyoke basalirwe omusango abatakkiriza mazima naye abasanyukira obutali butuukirivu.
13 # Bef 1:4, Ma 33:12, 1 Bas 2:13; 4:7 Naye kitugwanidde ffe okwebazanga Katonda ennaku zonna ku lwammwe, ab'oluganda abaagalwa Mukama waffe, kubanga Katonda yabalondera obulokozi okuva ku lubereberye mu kutukuzibwa Omwoyo n'okukkiriza amazima: 14#1 Bas 4:7; 5:9bye yabayitira n'enjiri yaffe, olw'okufuna ekitiibwa kya Mukama waffe Yesu Kristo. 15Kale nno, ab'oluganda, muyimirirenga, era munywezenga bye mwaweebwa ne muyigirizibwa, oba mu kigambo oba mu bbaluwa yaffe.
16 # 1 Bas 3:11-13 Naye Mukama waffe Yesu Kristo yennyini, ne Katonda Kitaffe, eyatwagala n'atuwa okusanyusa okutaggwaawo n'essuubi eddungi mu kisa, 17abasanyuse emitima gyammwe aginywezenga mu buli kikolwa n'ekigambo ekirungi.

Currently Selected:

2 Abasessaloniika 2: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy