2 Abakkolinso 9
9
1 #
2 Kol 8:4,20 Kubanga eby'okuweereza abatukuvu tekinneetaagisa kubibawandiikira: 2kubanga mmanyi okwagala kwammwe, kwe nneenyumiririzaamu eri ab'e Makedoni ku lwammwe, nga Akaya yaakamala omwaka gumu okweteekateeka; n'okunyiikira kwammwe kwakubiriza bangi mu bo. 3Naye ntuma ab'oluganda, okwenyumiriza kwaffe ku lwammwe kuleme okuba okw'obwereere mu kigambo ekyo; nga bwe njogedde, mulyoke mweteeketeeke: 4mpozzi ab'e Makedoni abalala bwe balijja nange, bwe balibasanga nga temweteeseteese, ffe (obutoogera mmwe) tuleme okukwatibwa ensonyi mu kusuubira okwo. 5Kyenvudde ndowooza nga kiŋŋwanidde okwegayirira ab'oluganda, bankulembere okujja gye muli, basooke balongoose omukisa gwammwe gwe mwasuubiza edda, gulyoke gweteeketeeke, ng'omukisa, so si ng'ekisoloozebwa.
6 #
Nge 11:24; 19:17 Naye kye njogedde kino nti Asiga entono, alikungula ntono; era asiga ennyingi, alikungula nnyingi. 7#Bar 12:8, 1 Byom 29:17Buli muntu akolenga nga bw'amaliridde mu mutima gwe; si lwa nnaku, newakubadde olw'okuwalirizibwa: kubanga Katonda ayagala oyo agaba n'essanyu. 8Era Katonda ayinza okwaza ekisa kyonna gye muli; mmwe nga mulina ebibamala byonna ennaku zonna mu bigambo byonna mulyoke musukkirirenga mu bikolwa byonna ebirungi: 9#Zab 112:9nga bwe kyawandiikibwa nti
Yasaasaanya, yagabira abaavu;
Obutuukirivu bwe bwa lubeerera emirembe gyonna.
10 #
Is 55:10, Kos 10:12 Era oyo awa ensigo omusizi n'emmere ey'okulya, anaabawanga anaabongerangako ensigo zammwe, era anaayazanga ebibala eby'obutuukirivu bwammwe: 11#2 Kol 1:11; 4:15nga mugaggawazibwa mu byonna mukolenga obugabi bwonna, obwebazisa Katonda mu ffe. 12#2 Kol 8:14Kubanga okugaba okw'okuweereza okwo tekujjula bujjuzi ekigera ky'ebyo abatukuvu bye beetaaga, era naye kusukkirira olw'okwebaza okungi eri Katonda: 13Kubanga olw'okukemebwa kwammwe mu kuweereza kuno batendereza Katonda olw'okugonda okw'okwatula kwammwe eri enjiri ya Kristo, n'olw'obugabi bw'okugabana kwammwe eri bo n'eri bonna; 14era bo bokka nga balumirwa mmwe emyoyo mu kubasabira olw'ekisa kya Katonda ekitasingika mu mmwe. 15Katonda yeebazibwe olw'ekirabo kye ekitayogerekeka.
Currently Selected:
2 Abakkolinso 9: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.