2 Abakkolinso 10
10
1 #
1 Kol 2:3, Bag 5:2 Naye nze kennyini Pawulo mbeegayirira olw'obukkakkamu n'obuwombeefu bwa Kristo, nze gwe mutoowaza bwe mba ssiriiwo mpitibwa muzira; 2#1 Kol 4:21kale mbeegayirira bwegayirizi, lwe ndibaawo nneme okubalaga obuzira obwo bwe ndowooza okuba nabwo eri abalala abalowooza nga ffe tutambula okugobereranga omubiri. 3Kuba newakubadde nga tutambulira mu mubiri, tetulwana kugobereranga mubiri 4#Bef 6:13-17(kubanga ebyokulwanyisa eby'entalo zaffe si bya mubiri, naye bya maanyi eri Katonda olw'okumenya ebigo); 5nga tumenya empaka na buli kintu ekigulumivu ekikulumbazibwa okulwana n'okutegeera kwa Katonda, era nga tujeemula buli kirowoozo okuwulira Kristo; 6#2 Kol 2:9era nga tweteeseteese okuwalana eggwanga ku butagonda bwonna, okugonda kwammwe bwe kulituukirira. 7Mutunuulire ebintu nga bwe biri. Omuntu yenna bwe yeewulira muli nga wa Kristo yeerowooze kino nate yekka nti nga ye bw'ali owa Kristo, era naffe bwe tutyo. 8#2 Kol 12:6, 1 Kol 5:4,5Kubanga ne bwe ndisukkirira okwenyumiriza olw'obuyinza bwaffe (Mukama waffe bwe yatuwa olw'okubazimba, so si lwa kubasuula), ssirikwatibwa nsonyi: 9nneme okufaanana ng'abatiisa n'ebbaluwa zange. 10Kubanga boogera nti Ebbaluwa ze nzibu, za maanyi; naye bw'abaawo omubiri gwe munafu, n'okwogera kwe si kintu. 11#2 Kol 13:2,10Ali bw'atyo alowooze kino nti nga bwe tuli mu bigambo mu bbaluwa nga tetuliiyo, era bwe tutyo bwe tuli mu bikolwa nga tuli eyo. 12#2 Kol 3:1; 5:12Kubanga tetwaŋŋanga kwerowooza nga tuli ku muwendo gw'abalala ku bo abeetendereza bokka newakubadde okwegeraageranya nabo: naye bo bokka nga beegeza bokka na bokka, era nga beegeraageranya bokka na bokka, tebalina magezi. 13#Bar 12:3Naffe ffe tetulyenyumiriza okusinga ekigera kyaffe, wabula mu kigera eky'ensalo Katonda gye yatugabira okuba ekigera, era n'okutuuka ne gye muli. 14Kubanga tetukununkiriza kusinga kigera ng'abatatuuka gye muli: kubanga era twajja n'okutuuka gye muli mu njiri ya Kristo: 15#Bar 15:20nga tetwenyumiriza kusinga kigera kyaffe mu mirimu egy'abalala; naye nga tusuubira, okukkiriza kwammwe bwe kukula okugulumizibwa mu mmwe ng'ensalo yaffe bw'eri okusukkirira, 16#Bik 19:21era n'okubuulira enjiri mu bifo ebiri ewala okusinga mmwe, era obuteenyumiriza mu nsalo ey'abalala olw'ebyeteeseteese. 17#Yer 9:23, 1 Kol 1:31Naye eyeenyumiriza yeenyumirizenga mu Mukama waffe. 18#1 Kol 4:5Kubanga eyeetendereza yekka si ye asiimibwa, wabula Mukama waffe gw'atendereza.
Currently Selected:
2 Abakkolinso 10: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.