Bible App logo
Search Icon

2 Abakkolinso 8

8
1 # Is 66:2, Bar 15:26 Era tubategeeza, ab'oluganda, ekisa kya Katonda ekyaweebwa mu kkanisa ez'e Makedoni; 2mu kubonaabona okwabakema ennyo essanyu lyabwe eryasukkirira, n'obwavu bwabwe obwayinga obungi byasukkirira mu bugagga obw'obugabi bwabwe. 3Kubanga, ntegeeza bo, baagaba bokka nga bwe baayinza era n'okusinga obuyinza bwabwe, 4#2 Kol 9:1, Bik 11:29nga batusaba n'okwegayirira okungi olw'ekisa ekyo n'okussa ekimu okwo mu kuweereza abatukuvu; 5so si nga bwe nnali ndowooza, naye baasooka okwewaayo bokka eri Mukama waffe, n'eri ffe mu kwagala kwa Katonda. 6Kyetwava tubuulirira Tito, nga bwe yatanula edda, era bw'atyo alyoke akituukirize era n'ekisa ekyo gye muli. 7#1 Kol 1:5; 16:1,2Naye nga bwe musukkirira mu byonna, mu kukkiriza, ne mu kwogera, ne mu kutegeera, ne mu kufuba kwonna, ne mu kwagala kwammwe eri ffe, era musukkirirenga ne mu kisa ekyo. 8Soogera nga mbalagira bulagizi, wabula olw'okufuba kw'abalala nga nkema okwagala kwammwe nga kwa mazima. 9#Mat 8:20Kubanga mutegeera ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo, nti bwe yali omugagga, naye n'afuuka omwavu ku lwammwe, obwavu bwe bulyoke bubagaggawaze mmwe. 10Era mbagambye kye ndowooza olw'ekyo: kubanga kibasaanira mmwe, abaasooka okutanula, si kukola kwokka, era naye n'okwagala, nga mwakamala omwaka gumu. 11Naye kaakano mutuukirize n'okukola; nga bwe waaliwo okwagala amangu, era n'okutuukiriza bwe kutyo kulyoke kubeerewo, nga bwe muyinza. 12#Nge 3:27,28, Mak 12:43Kuba oba nga waliwo okwagala amangu, kukkirizibwa ng'omuntu bw'alina, si nga bw'atalina. 13Kubanga soogedde bwe ntyo, abalala bawummuzibwe, nammwe muteganyizibwe: 14#2 Kol 9:12wabula olw'okwenkanankana, okusukkirira kwammwe kuweereze okwetaaga kwabwe kaakano mu biro bino, era n'okusukkirira kwabwe kulyoke kuweereze okwetaaga kwammwe; okwenkanankana kubeerewo: 15#Kuv 16:18nga bwe kyawandiikibwa nti Eyakuŋŋanyanga ennyingi, teyasigazangawo; naye eyakuŋŋaanyanga akatono, teyeetaaganga.
16Naye Katonda yeebazibwe, eyassa mu mutima gwe Tito okufuba okwo ku lwammwe. 17Kubanga okukkiriza akkirizza okubuulirira kwaffe; kubanga naye yennyini alina okufuba okungi, asitula okugenda gye muli nga yeetuma. 18Era tutuma wamu naye ow'oluganda, atenderezebwa mu njiri mu kkanisa zonna; 19#Bag 2:10so si ekyo kyokka, era naye oyo ye yalondebwa ekkanisa okutambula naffe olw'ekisa ekyo, kye tuweereza ffe Mukama waffe aweebwe ekitiibwa, era tulage okwagala kwaffe amangu: 20nga twewala ekyo, omuntu obutatunenya olw'ekirabo kino kye tuweereza: 21#Nge 3:4kubanga tuteekateeka ebirungi, si mu maaso ga Mukama waffe mwokka, era naye ne mu maaso g'abantu. 22Era tutuma wamu nabo muganda waffe, gwe twakemanga emirundi emingi mu bigambo ebingi nga munyiikivu, naye kaakano munyiikivu nnyo okusingawo, olw'okwesiga okungi kw'alina eri mmwe. 23#2 Kol 7:13; 12:18, Bar 16:7Omuntu bw'anaabuuzanga ebya Tito, ye assa ekimu nange era ye mukozi munnange eri mmwe; oba bya baganda baffe, be babaka ab'ekkanisa, abo kye kitiibwa kya Kristo. 24#2 Kol 7:14Kale mubalage mu maaso g'ekkanisa ekiraga okwagala kwammwe n'okwenyumiriza kwaffe ku lwammwe.

Currently Selected:

2 Abakkolinso 8: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in