YouVersion Logo
Search Icon

Abaruumi 2

2
Katonda asala omusango mu bwenkanya
1Kyova olema okubeera n'eky'okuwoza, ggwe omuntu, kyonna kyoli, bw'osalira omulala omusango; kubanga mu kusalira abalala omusango, naawe oba ogwesalidde okukusinga; kuba bo bye bakola, naawe agusala by'okolera ddala. #Mat 7:2, Yok 8:7 2Tumanyi nga ensala ya Katonda mu mazima etuukira ddala ku abo abakola bwe batyo. 3Olowooza ggwe omuntu, asalira abakola ebyo omusango okubasinga, so nga naawe by'okola, olowooza nti oliwona omusango Katonda gw'alisala? 4Oba ekisa kya Katonda ekingi n'obuwombeefu n'okugumiikiriza, byonyoomye? Tomanyi nga ekisa kya Katonda weekiri olw'okukuleetera okwenenya? #2 Peet 3:15 5Naye olw'obukakanyavu n'omutima oguteenenya, weeterekera obusungu obuliba ku lunaku olw'obusungu, obutuukirivu bwa Katonda obw'okusala omusango kwe bulibikkulirwa; 6alisasula buli muntu ng'ebikolwa bye bwe byali;#Zab 62:12, Nge 24:12, Mat 16:27, Yok 5:29, 2 Kol 5:10 7abo mu kugumiikiriza abanyiikira okukola ebirungi nga baluubirira okufuna ekitiibwa n'ettendo n'obutafa, alibasasula obulamu obutaggwaawo. 8Naye abo abayomba, n'abatagondera mazima, naye bagoberera obutali butuukirivu, Katonda alibasunguwalira, n'abakambuwalira. #2 Bas 1:8 9Walibaawo okubonyaabonyezebwa n'okulumizibwa, ku buli muntu akola ebibi, okusookera ku Muyudaaya era ne ku Muyonaani, #Bar 1:16; 3:9 10naye ekitiibwa n'ettendo n'emirembe, biribeera ku buli akola obulungi, okusookera ku Muyudaaya era ne ku Muyonaani, 11kubanga Katonda tasosola mu bantu.#Bik 10:34, 1 Peet 1:17 12Kubanga bonna abaayonoonanga awatali mateeka, era balizikirizibwa nga tebavunaanibwa mateeka, ate bonna abaayonoonanga nga balina amateeka, balisalirwa omusango okusinziira mu mateeka; 13kubanga abawulira obuwulizi amateeka si be batuukirivu eri Katonda, wabula abo abakola amateeka bye galagira be baliweebwa obutuukirivu.#Mat 7:21, 1 Yok 3:7, Yak 1:22,25 14Kubanga ab'amawanga abatalina mateeka bwe bakolera mu kutegeera okw'obuzaaliranwa bwabwe, ne batuukiriza ebyo amateeka bye galagira, abo, be baba bafuuse amateeka aga bafuga, newakubadde nga tebalina amateeka gali. #Bik 10:35 15Balaga nti amateeka kye galagira kiwandiikiddwa mu mitima gyabwe, omwoyo gwabwe gukikakasa, kubanga ebirowoozo byabwe emirundi egimu bibalumiriza omusango, ate emirundi emirala bibawolereza; #Bar 1:32 16ku lunaku olwo, okusinziira ku njiri yange, Katonda asala omusango gw'ebyama by'abantu ku bwa Yesu Kristo.#2 Tim 2:8
Abayudaaya n'amateeka
17Naye ggwe bw'oyitibwa Omuyudaaya, ne weesigama ku mateeka, ne weenyumiririza mu Katonda, #Yak 2:19 18n'omanya Katonda by'ayagala, n'osiima ebisinga obulungi, kubanga wayigirizibwa mu mateeka, #Baf 1:10 19era bw'oba weekakasa ggwe okubeera omusaale w'abazibe b'amaaso, omusana gw'abali mu kizikiza,#Mat 15:14, Luk 18:9 20omulagirizi w'abatalina magezi, Omuyigiriza w'abaana abato, kubanga tulina mu mateeka, ebisibiddwamu eby'amagezi n'eby'amazima; #2 Tim 3:5 21kale ggwe ayigiriza abalala, lwaki teweeyigiriza wekka? Abuulira obutabbanga, obba?#Zab 50:16-21, Mat 23:3,4 22Agamba abalala obutayendanga, oyenda? Akyawa ebifaananyi, obba eby'omu biggwa? 23Eyeenyumiririza mu mateeka, onyooma Katonda ng'osobya amateeka? 24Kubanga erinnya lya Katonda livvoolebwa mu b'amawanga ku lwammwe, nga bwe kyawandiikibwa.#Is 52:5, Ez 36:20 25Kubanga okukomolebwa kugasa, bw'okwata amateeka; naye bw'oba omusobya w'amateeka okukomolebwa kwo kuba kufuuse obutakomolebwa.#Yer 4:4; 9:24,25 26Kale atali mukomole bw'akwata ebiragiro ebiri mu mateeka, obutakomolebwa bwe tebulibalibwa kuba kukomolebwa?#Bag 5:6 27Era atali mukomole mu buzaaliranwa, bw'atuukiriza amateeka, talikusalira musango ggwe, asobya amateeka, newakubadde ng'olina ebyawandiikibwa mu mateeka era nga wakomolebwa? 28Kubanga Omuyudaaya ow'okungulu si ye Muyudaaya; so n'okukomolebwa kw'omubiri okw'okungulu si kwe kukomolebwa,#Yok 8:15,39, Bag 6:15 29naye Omuyudaaya ow'omunda ye Muyudaaya; n'okukomolebwa kwe okw'omu mutima, mu mwoyo, si mu nnukuta; atatenderezebwa bantu, wabula Katonda.#Lub 49:8, Ma 30:6, Bak 2:11

Currently Selected:

Abaruumi 2: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in