YouVersion Logo
Search Icon

Abaruumi 3

3
Omuyudaaya talina ky'asinza balala
1Kale Omuyudaaya kiki ky'asinza abalala? Oba okukomolebwa kugasa ki? 2Kugasa nnyo mu bigambo byonna, eky'olubereberye kubanga Abayudaaya baateresebwa ebyo Katonda bye yayogera.#Bar 9:4, Ma 4:7,8, Zab 147:19,20; 103:7, 1 Peet 4:11 3Kubanga kiba ki abamu bwe bataba na kukkiriza, obutakkiriza bwabwe buliggyawo obwesigwa bwa Katonda? 4Nedda, tekisoboka. Katonda aba wa mazima, buli muntu ne bw'aba omulimba; nga bwe kyawandiikibwa nti,
“Obeere mutuukirivu mu bigambo byo,
Osinge bw'osalirwa omusango.” #Zab 116:11; 51:4
5Naye obutali butuukirivu bwaffe bwe butenderezesa obutuukirivu bwa Katonda, tunaayogera tutya? Katonda si mutuukirivu bw'atubonereza n'obusungu? Njogera ng'abantu bwe boogera. 6Nedda n'akatono! Kubanga, bwe kiba bwe kityo, Katonda alisalira atya ensi omusango? 7Naye amazima ga Katonda bwe geeyongera okulabika olw'obulimba bwange ye n'aweebwa ekitiibwa, nze kiki ekinsaliza omusango nate ng'omwonoonyi? 8Era kiki ekitulobera okwogera (nga bwe tuwaayirizibwa, era ng'abamu bwe boogera nti tugamba) nti, “Tukolenga ebibi, ebirungi biryoke bijje?” Abo okusalirwa kwabwe omusango kwa nsonga. #Bar 6:1,2
Abantu bonna bafugibwa ekibi
9Kale kiki? Ffe Abayudaaya tulina kyetusinza abalala? Nedda, n'akatono. Kubanga tusoose okulaga nti Abayudaaya era n'Abayonaani bonna bafugibwa kibi,#Bar 1:18; 2:24 10nga bwe kyawandiikibwa nti,
“Tewali mutuukirivu n'omu;#Zab 14:1-3; 53:2-4
11Tewali ategeera,
Tewali anoonya Katonda;
12Bonna baakyama, baafuuka batasaana wamu;
Tewali akola obulungi, tewali n'omu;
13Omumiro gwabwe ye ntaana eyasaamiridde;
Balimba n'ennimi zaabwe;
Obusagwa bw'embalasaasa buli wansi w'emimwa gyabwe:#Zab 5:9; 140:3
14Akamwa kaabwe kajjudde okukolima n'okukaawa:#Zab 10:7
15Ebigere byabwe byanguwa okuyiwa omusaayi;#Is 59:7,8
16Okuzikirira n'obunaku biri mu makubo gaabwe;
17So tebamanyanga kkubo lya mirembe.
18Tewali kutya Katonda mu maaso gaabwe.”#Zab 36:1
19Naye tumanyi nga byonna amateeka bye googera, gagamba abo abalina amateeka; buli kamwa konna kazibibwe, n'ensi zonna zibeereko omusango eri Katonda.#Bar 2:12, Bag 3:22 20Kubanga olw'ebikolwa by'amateeka alina omubiri yenna taliweebwa butuukirivu mu maaso ge, kubanga amateeka ge gamanyisa ekibi.#Zab 143:2, Bar 7:7, Bag 2:16
Obutuukirivu bwa Katonda obulokola
(3:21—4:25)
Obutuukirivu bufunibwa lwa kukkiriza
21Naye kaakano awatali mateeka obutuukirivu bwa Katonda, obutegeezebwa amateeka ne bannabbi, bulabisibwa; 22bwe butuukirivu bwa Katonda olw'okukkiriza Yesu Kristo eri bonna abakkiriza; kubanga tewali njawulo; 23kubanga bonna baayonoona, ne batatuuka ku kitiibwa kya Katonda;#Bar 3:9,19; 5:12 24naye baweebwa obutuukirivu bwa buwa lwa kisa kye olw'okununulibwa okuli mu Kristo Yesu.#Bar 5:1, Bef 2:8 25Katonda gwe yassaawo okuba omutango, olw'okukkiriza omusaayi gwe, okulaga obutuukirivu bwe, olw'okuleka ebibi ebyakolebwanga edda, Katonda ng'agumiikiriza;#Leev 16:12-15, Beb 4:16, Bef 1:7 26okulaga obutuukirivu bwe mu biro bino, alyoke abeere omutuukirivu era ng'awa obutuukirivu buli akkiriza Yesu. 27Kale okwenyumiriza kuli luuyi wa? Tekuuliwo. Lwaki tekuuliwo? Tekuuliwo olw'ebikolwa? Nedda, naye lwa kukkiriza. #1 Kol 1:29,31 28Kyetuva tukakasa ng'omuntu aweebwa obutuukirivu lwa kukkiriza sso si lwa kutuukiriza bikolwa bya mu mateeka. #Bag 2:16 29Oba Katonda, Katonda wa Bayudaaya bokka? Si Katonda wa b'amawanga n'abo? Weewaawo, era n'aba mawanga n'abo waabwe. #Bar 10:12 30Olw'okuba Katonda ali omu, aliwa obutuukirivu abakomole olw'okukkiriza, n'abatali bakomole olw'okukkiriza.#Bar 4:11,12 31Kale amateeka tugaggyawo olw'okukkiriza? Nedda, nakatono. Naye tuganyweza bunyweza.#Bar 4:3; 8:4, Mat 5:17

Currently Selected:

Abaruumi 3: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in