Abaruumi 1
1
Enjiri ebikkula obutuukirivu bwa Katonda
(1:1-17)
Okulamusa abawandiikirwa ebbaluwa
1Pawulo, omuddu wa Yesu Kristo, eyayitibwa okuba omutume, ne njawulibwa okubunyisa Enjiri ya Katonda,#9:15; 13:2, Bag 1:15 2gye yasuubiriza edda mu bannabbi be, ne mu byawandiikibwa ebitukuvu.#Tit 1:2, Bar 16:25,26 3Enjiri ekwata ku Mwana we, eyazaalibwa mu zzadde lya Dawudi mu mubiri,#Bar 9:5, 2 Sam 7:12, Mat 22:42, 2 Tim 2:8 4eyalagibwa okuba Omwana wa Katonda mu maanyi, ne mu mwoyo gw'obutukuvu, n'olw'okuzuukira kwe mu bafu; Yesu Kristo Mukama waffe,#Bik 13:33 5okuyita mu ye mwe twafunira ekisa n'obutume, tuleete obugonvu bw'okukkiriza olw'erinnya lye mu mawanga gonna, #Bik 26:16-18, Bar 15:18, Bag 2:7,9 6era nammwe muli mu bo, abayitibwa okuba aba Yesu Kristo; 7eri bonna abali mu Ruumi, abaagalwa Katonda, abayitibwa okuba abatukuvu, ekisa kibe nammwe n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo.#1 Kol 1:2, 2 Kol 1:1, Bef 1:1, Kubal 6:25,26
Okwebaza Katonda
8Okusooka, nneebaza Katonda wange ku bwa Yesu Kristo ku lwammwe mwenna, kubanga okukkiriza kwammwe kwogerwako mu nsi zonna.#Bar 16:19, 1 Bas 1:8 9Kubanga Katonda ye mujulirwa, gw'empeereza mu mwoyo gwange, mu njiri y'Omwana we, bw'entyo buli kiseera mboogerako bulijjo mu ssaala zange, #Baf 1:8, Bef 1:16 10nga nneegayirira bulijjo mu kusaba kwange, Katonda bw'ayagala, ndyoke ntambuzibwe bulungi okujja gye muli.#Bik 19:21, Bar 15:23,32 11Kubanga neegomba okubalabako, ndyoke mbawe ku kirabo eky'Omwoyo, mulyoke munywezebwe, #Bik 28:31 12olwo fenna tuzibwemu amaanyi olw'okukkiriza kwaffe, okwammwe n'okwange. #2 Peet 1:1 13Era, ab'oluganda, njagala mumanye ng'emirundi mingi nalowoozanga okujja gye muli, naye ne nziyizibwa okutuusa kaakano, ndyoke mbeereko n'ebibibala by'enfuna mu mmwe, era nga ne mu b'amawanga amalala. #Yok 15:16 14Nnina obuvunanyizibwa okuyamba Abayonaani era ne bannamawanga, ab'amagezi era n'abasirusiru. 15Era kyenva njagala okubabuulira Enjiri nammwe abali mu Ruumi.
Amaanyi g'Enjiri
16Kubanga Enjiri tenkwasa nsonyi; kubanga ge maanyi ga Katonda agalokola buli akkiriza, okusookera ku Muyudaaya era n'Omuyonaani. #Zab 119:46, 1 Kol 1:18,24, Bik 13:46 17Kubanga mu Njiri Obutuukirivu bwa Katonda bubikkulibwa obuva mu kukkiriza okutuuka mu kukkiriza; nga bwe kyawandiikibwa nti, “Naye omutuukirivu anaabanga mulamu lwa kukkiriza.”#Bar 3:21,22, Kaab 2:4
Obutuukirivu bwa Katonda n'obusungu bwe eri aboonoonyi
(1:18—3:20)
Obusungu bwa Katonda eri aboonoonyi
18Kubanga obusungu bwa Katonda bubikkulibwa okuva mu ggulu ku butatya Katonda bwonna, n'obutaba na butuukirivu bwonna obw'abantu abaziyiza amazima mu butaba na butuukirivu;#Yok 16:9, 2 Bas 2:12 19kubanga ebiyinza okumanyika ebya Katonda bimanyika birabika gyebali; kubanga Katonda yabibalaga. #Bik 14:15-17; 17:24-28 20Kubanga okuviira ddala ku kutonda ensi, embeera ye eterabika, kwe kugamba obuyinza bwe obutaggwaawo n'obwakatonda bwe; birabikira ddala bulungi, nga bitegeererwa mu ebyo bye yatonda, bwe batyo babeere nga tebalina kya kuwoza;#Zab 19:1, Beb 11:3, Yob 12:7-9 21kubanga newakubadde nga Katonda baamumanya, naye tebamugulumizanga nga Katonda newakubadde okumwebazanga, wabula ne bagobereranga ebitaliimu mu mpaka zaabwe, omutima gwabwe omusirusiru ne gujjuzibwa ekizikiza. #Bef 4:18, Kub 14:7 22Bwe beeyita ab'amagezi, so nga baasiruwala,#Yer 10:14, 1 Kol 1:20 23ne bawaanyisa ekitiibwa kya Katonda ataggwaawo okufaanana ekifaananyi ky'omuntu aggwaawo, n'eky'ebinyonyi, n'eky'ebisolo, n'eky'ebyewalula.#Zab 106:20, Ma 4:15-19
24Katonda kyeyava abawaayo eri obugwagwa mu kwegomba kw'emitima gyabwe, okwonoonanga ekitiibwa ky'emibiri gyabwe bokka na bokka,#Bik 14:16 25kubanga amazima ga Katonda baagawaanyisaamu obulimba, ne basinzanga era ne baweerezanga ekitonde okusinga Omutonzi, eyeebazibwa emirembe n'emirembe. Amiina.#Bar 9:5
26Katonda kyeyava abawaayo eri okukwatibwa okw'ensonyi; kubanga abakazi baabwe baawaanyisa ekikolwa kyabwe eky'obuzaaliranwa ne bakifuula ekitali kya buzaaliranwa, 27era n'abasajja bwe batyo, bwe baaleka ekikolwa eky'omukazi eky'obuzaaliranwa, ne baakanga mu kwegomba kwabwe bokka na bokka, abasajja n'abasajja nga bakolagananga ebitasaana, era bwe batyo ne beereetera ekibonerezo ekigwanira okwonoona kwabwe. #Leev 18:22; 20:13, 1 Kol 6:9
28Era nga bwe batakkiriza kubeera ne Katonda mu magezi gaabwe, Katonda yabawaayo eri omwoyo ogutakkirizibwa, okukolanga ebitasaana; 29nga bajjudde obutaba na butuukirivu bwonna, obubi, okwegomba, ettima; nga bajjudde obuggya, obussi, okuyomba, obukuusa, enge; abageya, 30abalyolyoma, abakyawa Katonda, ab'ekyejo, ab'amalala, abeenyumiriza, abayiiya ebigambo ebibi, abatawulira bazadde baabwe, 31abatalina magezi, abaleka endagaano, abataagalana, abatalina kusaasira: 32era newakubadde bamanyi nga Katonda asala omusango, era nti abakola ebyo basaanidde kufa, tebabikola bukozi, era naye basiima ababikola.
Currently Selected:
Abaruumi 1: LBR
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.