1
Abaruumi 2:3-4
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Olowooza ggwe omuntu, asalira abakola ebyo omusango okubasinga, so nga naawe by'okola, olowooza nti oliwona omusango Katonda gw'alisala? Oba ekisa kya Katonda ekingi n'obuwombeefu n'okugumiikiriza, byonyoomye? Tomanyi nga ekisa kya Katonda weekiri olw'okukuleetera okwenenya?
Compare
Explore Abaruumi 2:3-4
2
Abaruumi 2:1
Kyova olema okubeera n'eky'okuwoza, ggwe omuntu, kyonna kyoli, bw'osalira omulala omusango; kubanga mu kusalira abalala omusango, naawe oba ogwesalidde okukusinga; kuba bo bye bakola, naawe agusala by'okolera ddala.
Explore Abaruumi 2:1
3
Abaruumi 2:11
kubanga Katonda tasosola mu bantu.
Explore Abaruumi 2:11
4
Abaruumi 2:13
kubanga abawulira obuwulizi amateeka si be batuukirivu eri Katonda, wabula abo abakola amateeka bye galagira be baliweebwa obutuukirivu.
Explore Abaruumi 2:13
5
Abaruumi 2:6
alisasula buli muntu ng'ebikolwa bye bwe byali
Explore Abaruumi 2:6
6
Abaruumi 2:8
Naye abo abayomba, n'abatagondera mazima, naye bagoberera obutali butuukirivu, Katonda alibasunguwalira, n'abakambuwalira.
Explore Abaruumi 2:8
7
Abaruumi 2:5
Naye olw'obukakanyavu n'omutima oguteenenya, weeterekera obusungu obuliba ku lunaku olw'obusungu, obutuukirivu bwa Katonda obw'okusala omusango kwe bulibikkulirwa
Explore Abaruumi 2:5
Home
Bible
Plans
Videos