YouVersion Logo
Search Icon

Abaruumi 16

16
Okulamusa
1Mbanjulira Foyibe mwannyinaffe, omuweereza w'ekkanisa ey'omu Kenkereya, 2mulyoke mumwanirize mu Mukama waffe, nga bwe kigwanidde abatukuvu, era mumuyambe mu kigambo kyonna ky'alyetaaga okuva gye muli, kubanga naye yennyini yayamba bangi, era nange nzennyini.
3Munnamusize Pulisika ne Akula abaakolera awamu nange mu Kristo Yesu,#Bik 18:2,18,26 4abaawaayo obulago bwabwe olw'obulamu bwange; be sseebaza nze nzekka, era naye n'ekkanisa zonna ez'ab'amawanga. 5Munnamusize ekkanisa ey'omu nnyumba yaabwe. Mulamuse Epayineeto, gwe njagala, kye kibala eky'olubereberye eky'omu Asiya eri Kristo.#1 Kol 16:15,19, Bak 4:15, Fir 1:23 6Mulamuse Malyamu, eyabakolera mmwe emirimu emingi. 7Mulamuse Anduloniiko ne Yuniya, ab'ekika kyange, era abaasibirwa awamu nange, ab'amaanyi mu batume, era abansooka okubeera mu Kristo.#2 Kol 8:23 8Mulamuse Ampuliyaato, gwe njagala mu Mukama waffe. 9Mulamuse Ulubano, akolera awamu naffe mu Kristo, ne Sutaku gwe njagala. 10Mulamuse Apere akkirizibwa mu Kristo. Mubalamuse ab'omu nnyumba ya Alisutobulo. 11Mulamuse Kerodiyoni, ow'ekika kyange. Mubalamuse ab'omu nnyumba ya Nalukiso, abali mu Mukama waffe. 12Mulamuse Terufayina ne Terufoosa abaakola emirimu mu Mukama waffe. Mulamuse Perusi omwagalwa, eyakola emirimu emingi mu Mukama waffe. 13Mulamuse Luufo, eyalondebwa mu Mukama waffe, ne nnyina, ye mmange.#Mak 15:21 14Mulamuse Asunkulito, Fulegoni, Kerume, Patuloba, Keruma, n'ab'oluganda abali awamu nabo. 15Mulamuse Firologo ne Yuliya, Nerewu ne mwannyina, ne Olumpa, n'abatukuvu bonna abali awamu nabo. 16Mulamusagane n'okunywegera okutukuvu. Ekkanisa zonna eza Kristo zibalamusizza.#1 Kol 16:20, 1 Peet 5:14
Ebisembayo
17Era mbeegayiridde, ab'oluganda, mutunuulirenga abo abaleeta eby'okwawukanya n'eby'okwesittaza, ebitali bya kuyigiriza kwe mwayiga, mubeewalenga abo. 18Kubanga abaliŋŋanga abo si baddu ba Mukama waffe Kristo, naye ba mbuto zaabwe bokka; era n'ebigambo ebirungi n'eby'okunyumya obulungi balimbalimba emitima gy'abo abatalina kabi.#Baf 3:19, Ez 13:18, Bak 2:4, 2 Peet 2:3 19Kubanga newakubadde obuwulize bwammwe bumanyiddwa bonna, ekindetera okubasanyukira mmwe; naye njagala mmwe okubeeranga abagezi mw'ebyo ebirungi, naye abeewala ebyo ebibi. #Bar 1:8, Mat 10:16, 1 Kol 14:20 20Era Katonda ow'emirembe alibetenta Setaani wansi w'ebigere byammwe mangu.#Bar 15:33, Lub 3:15
Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe.
21Timoseewo, akolera awamu nange, abalamusizza; ne Lukiyo ne Yasooni ne Sosipateri, ab'ekika kyange.#Bik 16:1; 19:22; 20:4, Baf 2:19 22Nze Terutiyo, awandiise ebbaluwa eno, mbalamusizza mu Mukama waffe. 23Gayo, ansuza nze n'ekkanisa yonna, abalamusizza. Erasuto, omuwanika w'ekibuga, abalamusizza, ne Kwaluto, ow'oluganda.#1 Kol 1:14 24Ekisa kya Mukama waffe Kristo Yesu kibeerenga nammwe mwenna. Amiina.
Ebisembayo
(16:25-27)
25Era oyo ayinza okubanyweza ng'Enjiri n'okubuulirwa kwa Yesu Kristo bwe biri, ng'ekyama bwe kibikkuddwa ekyasirikirwa okuva mu biro eby'emirembe n'emirembe,#Bef 1:9; 3:5,9, Bak 1:26 26naye kaakati kirabise ne kitegeezebwa amawanga gonna mu byawandiikibwa bya bannabbi, nga bwe yalagira Katonda ataggwaawo, olw'okuwulira okuva mu kukkiriza.#2 Tim 1:10, Bar 1:5 27Katonda ow'amagezi omu yekka aweebwenga ekitiibwa mu Yesu Kristo emirembe egitaggwaawo. Amiina.#1 Tim 1:17, Yud 1:25

Currently Selected:

Abaruumi 16: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in