YouVersion Logo
Search Icon

1 Abakkolinso Ennyanjula

Ennyanjula
Ebbaluwa eno yawandiikibwa omutume Pawulo nga agiwandiikira abakkiriza ab'omu kkanisa y'omu Kkolinso abaali beyawuddeyawuddemu ate nga balina ne bibuuzo bye baali bagala Pawulo abannyonnyole. Pawulo mu bbaluwa eno abakubiriza okubeera obumu, abannyonnyola ebirabo eby'Omwoyo omutukuvu, era n'addamu n'ebibuuzo byabwe. Ebbaluwa eno yagiwandiikira mu Efeso mu mwaka 58 AD.
Ebiri mu bbaluwa
I. Okwanjula (1:1 - 9).
II. Si kirungi ekkanisa okwesalamu (1:10—4:21).
III. Abakkiriza okuva mu bibi (5:1—6:20).
IV. Pawulo ayanukula ensonga ezamuwandiikirwa mu bbaluwa eyava mu Kkolinso (7:1—11:1).
V. Pawulo aluŋŋamya eby'okusinza mu kkanisa (11:2—14:40).
VI. Pawulo annyonnyola eby'okuzuukira kw'abafu (15:1-58).
VII. Okumaliriza (16:1-24).

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in