Era oyo ayinza okubanyweza ng'Enjiri n'okubuulirwa kwa Yesu Kristo bwe biri, ng'ekyama bwe kibikkuddwa ekyasirikirwa okuva mu biro eby'emirembe n'emirembe, naye kaakati kirabise ne kitegeezebwa amawanga gonna mu byawandiikibwa bya bannabbi, nga bwe yalagira Katonda ataggwaawo, olw'okuwulira okuva mu kukkiriza. Katonda ow'amagezi omu yekka aweebwenga ekitiibwa mu Yesu Kristo emirembe egitaggwaawo. Amiina.