Abaruumi 15
15
Okuyambagana mu bunafu bwaffe
1Era ffe abalina amaanyi kitugwanidde okwetikkanga obunafu bw'abo abatalina maanyi, so si kwesanyusanga fekka. 2Buli muntu mu ffe asanyusenga munne mu bulungi olw'okuzimba.#1 Kol 9:19; 10:24,33 3Kubanga era ne Kristo teyeesanyusanga yekka; naye, nga bwe kyawandiikibwa, nti, “Ebivume byabwe abaakuvuma byagwa ku nze.”#Zab 69:9 4Kubanga byonna ebyawandiikibwa edda, byawandiikibwa kutuyigiriza ffe, bwe tutyo mu kugumiikiriza n'olw'okuzibwamu amaanyi ebyawandiikibwa tubeerenga ne ssuubi. #Bar 4:23,24, 1 Kol 10:11 5Era Katonda w'okugumiikiriza n'okusanyusa abawe mmwe okulowoozanga obumu mwekka na mwekka mu ngeri ya Kristo Yesu,#Baf 3:16 6mulyoke muwenga ekitiibwa Katonda, Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, n'omwoyo ogumu n'eddoboozi limu.
Enjiri eri ab'amawanga
7Kale musembezaganyenga mwekka na mwekka, nga Kristo bwe yabasembeza mmwe, olw'ekitiibwa kya Katonda. 8Kubanga njogera nti Kristo yali muweereza w'abakomole olw'amazima ga Katonda, okunyweza ebyasuubizibwa eri bajjajja,#Mat 15:24, Bik 3:25 9era ab'amawanga balyoke bawenga Katonda ekitiibwa olw'okusaasira; nga bwe kyawandiikibwa nti,#Bar 11:30, Zab 18:49, 2 Sam 22:50
“Kyenaavanga nkutendereza mu b'amawanga,
Era nnaayimbanga ku linnya lyo.”
10Era nate ayogera nti,
“Musanyukenga, mmwe ab'amawanga, wamu n'abantu be.”#Ma 32:43
11Era nate nti,
“Mutenderezenga Mukama,
mmwe ab'amawanga mwenna;
Era ebika byonna bimutenderezenga.”#Zab 117:1
12Era nate Isaaya ayogera nti,
“Waliba ekikolo kya Yese,
Era ayimirira okufuga ab'amawanga;
Mu ye mwe mulibeera essuubi ly'ab'amawanga.” #Is 11:10, Kub 5:5
13Era Katonda ow'okusuubirwa abajjuze mmwe essanyu lyonna n'emirembe olw'okukkiriza, mmwe musukkirirenga mu kusuubira, mu maanyi ag'Omwoyo Omutukuvu.
Obutuukirivu bwa Katonda mu kuyigiriza kwa Pawulo
(15:14—16:24)
Ensonga Eyawandiisisa Pawulo n'obuvumu
14Era nange nze ntegeeredde ddala ebyammwe, baganda bange, nga nammwe mujjudde obulungi, mujjudde okutegeera kwonna, nga muyinza n'okubuuliriragananga mwekka na mwekka. 15Naye nneeyongedde okuguma katono okubawandiikira, nga mbajjukiza nate, olw'ekisa kye nnaweebwa Katonda,#Bar 1:5; 12:3 16nze okubeeranga omuweereza wa Kristo Yesu eri ab'amawanga nga mpereeza mu bwa kabona Enjiri ya Katonda, ssaddaaka y'ab'amawanga eryoke esiimibwe ng'etukuzibwa Omwoyo Omutukuvu.#Bar 11:13, Baf 2:17 17Kale okwenyumiriza ndi nakwo mu Kristo Yesu mu bya Katonda. 18Kubanga siryaŋŋaanga kwogera kigambo kyonna wabula Kristo bye yankoza, olw'okuwulira kw'ab'amawanga, mu kigambo ne mu kikolwa,#2 Kol 3:5 19mu maanyi g'obubonero n'eby'amagero, mu maanyi ag'Omwoyo Omutukuvu; bwe kityo okuva mu Yerusaalemi n'okwetooloola okutuuka mu Iruliko, n'abuulira Enjiri ya Kristo. #Mak 16:17 20Bwentyo nduubirira okubuuliranga Enjiri, awo erinnya lya Kristo we litayogerwangako, nnemenga okuzimba ku musingi gw'omuntu omulala; #2 Kol 10:15,16 21naye nga bwe kyawandiikibwa nti,
“Baliraba abatabuulirwanga bigambo bye,”
Era abatamuwulirangako balitegeera. #Is 52:15
Enteekateeka ya Pawulo okukyalira ab'e Ruumi
22Era kyennavanga nziyizibwa emirundi emingi okujja gye muli:#Bar 1:10-13 23naye kaakati, kubanga sikyalina kitundu kya kukoleramu mu nsi zino, era kubanga okuva mu myaka mingi nnali njagala okujja gye muli, 24nsuubira okubalabako nga ŋŋenda mu Esupaniya, era n'okunyamba mu lugendo olwo, bwe ndimala okubalabako n'okusanyukirako awamu nammwe. #1 Kol 16:6 25Naye kaakati ŋŋenda e Yerusaalemi, okutwalira abatukuvu obuyambi. #Bik 19:21; 20:22 26Kubanga ab'e Makedoni n'ab'e Akaya baasiima okuwaayo ebintu eri abaavu ab'omu batukuvu abali e Yerusaalemi.#1 Kol 16:1, 2 Kol 8:1; 9:2,12 27Baasiima okukikola; era ddala balina ebbanja gyebali, kuba oba ng'ab'amawanga bagabana ku mikisa gy'Abayudaaya egy'omwoyo, nabo basaana okugabana nabo ebintu eby'omubiri. #Bar 9:4, 1 Kol 9:11 28Kale bwe ndimala ekyo, bwe ndibakwasiza ddala ebyo ebyampeebwa, ndivaayo, ne mpitira ewammwe okugenda e Supaniya. 29Era mmanyi nga bwe ndijja gye muli ndijja n'omukisa gwa Kristo nga gutuukiridde.#Bar 1:11
30Era mbeegayiridde, ab'oluganda, ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo, n'olw'okwagala kw'Omwoyo, okufubiranga awamu nange mu kunsabira Katonda;#2 Kol 1:11, Baf 1:27, Bak 4:3, 2 Bas 3:1 31ndyoke mpone mu abo abatawulira mu Buyudaaya, n'okuweereza kwange kwe ntwala e Yerusaalemi kusiimibwe abatukuvu. 32Olw'okwagala kwa Katonda, ndyoke njije gye muli n'essanyu, mpummulire wamu nammwe. 33Era Katonda ow'emirembe abeerenga nammwe mwenna. Amiina.
Currently Selected:
Abaruumi 15: LBR
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.