YouVersion Logo
Search Icon

Abaruumi 12

12
Obutuukirivu mu mbeera eza bulijjo
(12:1—15:13)
Okuweereza Katonda okw'amagezi
1Kyenvudde mbeegayirira, ab'oluganda, olw'okusaasira kwa Katonda, okuwangayo emibiri gyammwe, ssaddaaka ennamu, entukuvu, esanyusa Katonda, kwe kuweereza kwammwe okw'amagezi. #Bar 6:11,13, 1 Peet 2:5, Yok 4:24 2So temufaananyizibwanga ng'emirembe gino: naye mukyusibwenga olw'okufuula amagezi gammwe amaggya, mulyoke mutegeere ebyo Katonda by'ayagala, ebirungi, ebisanyusa era ebituufu. #Bef 4:23; 5:10,17, Bar 1:28, Bag 1:4
Okukozesa obulungi ebirabo Katonda by'agaba
3Olw'ekisa kye nnaweebwa, mbeegayirira buli omu ku mmwe, alemenga okwerowooza okusinga bwe kimugwanidde okulowooza; naye okulowoozanga nga yeegendereza, nga Katonda bwe yagabira buli muntu ekigera ky'okukkiriza.#1 Kol 12:11, Bef 4:7 4Kuba nga bwe tulina ebitundu ebingi mu mubiri ogumu, naye ebitundu byonna tebirina mulimu gumu,#1 Kol 12:12 5bwe kityo ffe abangi tuli omubiri gumu mu Kristo, na buli muntu tuli ebitundu bya bannaffe fekka na fekka.#1 Kol 12:27, Bef 4:25 6Era bwe tulina ebirabo ebitenkanankana ng'ekisa kye twaweebwa bwe kiri, tubikozesenga bwe tutyo, oba bunnabbi, tubuulirenga mu kigera ky'okukkiriza kwaffe;#1 Kol 12:4 7oba kuweereza, tunyiikirenga mu kuweereza kwaffe; oba ayigiriza, anyiikirenga mu kuyigiriza kwe.#1 Peet 4:10,11 8Abuulirira, anyiikirenga mu kubuulirira kwe; agaba, agabenga awatali bukuusa; afuga afugenga n'okunyiikira; n'oyo asaasira, asaasirenga n'essanyu.#Mat 6:3, 2 Kol 8:2; 9:7 9Okwagala kubeerenga kwa mazima. Mukyawenga obubi, munywererenga ku kirungi. #1 Peet 1:22, 1 Tim 1:5, Am 5:15 10Mwagalanenga n'okwagala okw'ab'oluganda; nga musukirira mu kuwaŋŋana ekitiibwa.#2 Peet 1:7, Baf 2:3 11Mubeere banyiikivu si bagayaavu; nga muli basanyufu mu mwoyo; nga muweereza Mukama waffe.#Kub 3:15, Bik 18:25 12Musanyukenga mu kusuubira; mugumiikirizenga mu bunaku; munyiikirenga mu kusaba.#1 Bas 5:17 13Mugabirenga abatukuvu bye beetaaga; mwanirizenga abagenyi.#Beb 13:2 14Musabirenga ababayigganya; mubasabirenga, so temukolimanga.#Mat 5:44, Bik 7:59, 1 Kol 4:12 15Musanyukirenga wamu n'abo abasanyuka; mukaabirenga wamu n'abo abakaaba.#Zab 35:12 16Mubeerenga mu mirembe mwekka na mwekka. Temwegulumizanga, naye mukolaganenga n'abo abatalina bukulu. Temubanga ba magezi mu maaso gammwe mwekka.#Nge 3:7, Bar 15:5; 11:20 17Temuwalananga muntu kibi olw'ekibi. Mwetegekenga okukola ebirungi mu maaso g'abantu bonna. 18Oba nga kiyinzika, ku luuyi lwammwe, mutabaganenga n'abantu bonna.#Mak 9:50, Beb 12:14 19Temuwalananga mwekka ggwanga, abaagalwa, naye waakiri musegulirenga obusungu; kubanga kyawandiikibwa nti, “Okuwalana kwange; nze ndisasula, bw'ayogera Mukama.”#Ma 32:35, Leev 19:18, Mat 5:39, 2 Bas 1:6,7, Bar 13:4, Beb 10:30 20Naye “omulabe wo bw'alumwanga enjala, muliisenga; bw'alumwanga ennyonta, muwenga eky'okunywa; kubanga bw'okola bw'otyo, olimukumira amanda g'omuliro ku mutwe gwe.”#Nge 25:21,22, Mat 5:44 21Towangulwanga bubi, naye wangulanga obubi olw'obulungi.

Currently Selected:

Abaruumi 12: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in