1
Abaruumi 12:2
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
So temufaananyizibwanga ng'emirembe gino: naye mukyusibwenga olw'okufuula amagezi gammwe amaggya, mulyoke mutegeere ebyo Katonda by'ayagala, ebirungi, ebisanyusa era ebituufu.
Compare
Explore Abaruumi 12:2
2
Abaruumi 12:1
Kyenvudde mbeegayirira, ab'oluganda, olw'okusaasira kwa Katonda, okuwangayo emibiri gyammwe, ssaddaaka ennamu, entukuvu, esanyusa Katonda, kwe kuweereza kwammwe okw'amagezi.
Explore Abaruumi 12:1
3
Abaruumi 12:12
Musanyukenga mu kusuubira; mugumiikirizenga mu bunaku; munyiikirenga mu kusaba.
Explore Abaruumi 12:12
4
Abaruumi 12:21
Towangulwanga bubi, naye wangulanga obubi olw'obulungi.
Explore Abaruumi 12:21
5
Abaruumi 12:10
Mwagalanenga n'okwagala okw'ab'oluganda; nga musukirira mu kuwaŋŋana ekitiibwa.
Explore Abaruumi 12:10
6
Abaruumi 12:9
Okwagala kubeerenga kwa mazima. Mukyawenga obubi, munywererenga ku kirungi.
Explore Abaruumi 12:9
7
Abaruumi 12:18
Oba nga kiyinzika, ku luuyi lwammwe, mutabaganenga n'abantu bonna.
Explore Abaruumi 12:18
8
Abaruumi 12:19
Temuwalananga mwekka ggwanga, abaagalwa, naye waakiri musegulirenga obusungu; kubanga kyawandiikibwa nti, “Okuwalana kwange; nze ndisasula, bw'ayogera Mukama.”
Explore Abaruumi 12:19
9
Abaruumi 12:11
Mubeere banyiikivu si bagayaavu; nga muli basanyufu mu mwoyo; nga muweereza Mukama waffe.
Explore Abaruumi 12:11
10
Abaruumi 12:3
Olw'ekisa kye nnaweebwa, mbeegayirira buli omu ku mmwe, alemenga okwerowooza okusinga bwe kimugwanidde okulowooza; naye okulowoozanga nga yeegendereza, nga Katonda bwe yagabira buli muntu ekigera ky'okukkiriza.
Explore Abaruumi 12:3
11
Abaruumi 12:17
Temuwalananga muntu kibi olw'ekibi. Mwetegekenga okukola ebirungi mu maaso g'abantu bonna.
Explore Abaruumi 12:17
12
Abaruumi 12:16
Mubeerenga mu mirembe mwekka na mwekka. Temwegulumizanga, naye mukolaganenga n'abo abatalina bukulu. Temubanga ba magezi mu maaso gammwe mwekka.
Explore Abaruumi 12:16
13
Abaruumi 12:20
Naye “omulabe wo bw'alumwanga enjala, muliisenga; bw'alumwanga ennyonta, muwenga eky'okunywa; kubanga bw'okola bw'otyo, olimukumira amanda g'omuliro ku mutwe gwe.”
Explore Abaruumi 12:20
14
Abaruumi 12:14-15
Musabirenga ababayigganya; mubasabirenga, so temukolimanga. Musanyukirenga wamu n'abo abasanyuka; mukaabirenga wamu n'abo abakaaba.
Explore Abaruumi 12:14-15
15
Abaruumi 12:13
Mugabirenga abatukuvu bye beetaaga; mwanirizenga abagenyi.
Explore Abaruumi 12:13
16
Abaruumi 12:4-5
Kuba nga bwe tulina ebitundu ebingi mu mubiri ogumu, naye ebitundu byonna tebirina mulimu gumu, bwe kityo ffe abangi tuli omubiri gumu mu Kristo, na buli muntu tuli ebitundu bya bannaffe fekka na fekka.
Explore Abaruumi 12:4-5
Home
Bible
Plans
Videos