YouVersion Logo
Search Icon

Abaruumi 13

13
Okuwulira abafuga
1Buli muntu awulirenga abakulu abafuga, kubanga tewali bukulu butava eri Katonda; n'abakulu abaliwo baateekebwawo Katonda.#Tit 3:1, Yok 19:11, Nge 8:15 2Awakanya obukulu kyava awakanya okulagira kwa Katonda, era ababawakanya balyereetaako omusango bo bokka. 3Kubanga abafuga si ba kutiisa abo abakola ebirungi, wabula abo abakola ebibi. Era oyagala obutatya mukulu? Kola bulungi, alikusiima,#1 Peet 2:13,14; 3:13 4kubanga ye muweereza wa Katonda eri ggwe olw'obulungi. Naye bw'okola obubi, tya; kubanga takwatira bwereere kitala; kubanga ye muweereza wa Katonda, awalana obusungu bwe ku oyo akola obubi.#Zab 82:6, Bar 12:19 5Kyekivudde kibagwanira okuwulira, si lwa kwewala busungu bwa Katonda bwokka, naye era ne ku lw'omwoyo gwammwe. 6Era kyemuva muwa omusolo; kubanga be baweereza ba Katonda, nga banyiikirira mu mulimu ogwo. 7Musasulenga bonna amabanja gaabwe, ab'omusolo musolo; ab'empooza mpooza; ab'okutiibwa kutya; n'ab'ekitiibwa kitiibwa. #Mat 22:21
Ebigwanira eri muntu munno
8Temubeeranga na bbanja lyonna eri omuntu yenna, wabula okwagalananga; kubanga ayagala muntu munne, ng'atuukirizza amateeka.#Bag 5:14, 1 Tim 1:5 9Kubanga amateeka gano nti, “Toyendanga, tottanga, tobbanga, teweegombanga,” n'etteeka eddala lyonna, ligattiddwa mu kino, nti, “Yagalanga muntu munno nga bwe weeyagala wekka.”#Kuv 20:13-17, Leev 19:18, Ma 5:17 10Okwagala tekukola bubi muntu munne; okwagala kyekuva kutuukiriza amateeka.#Bik 17:31, 2 Kol 5:10, Mat 25:31,32
11Era mukolenga bwe mutyo, kubanga mumanyi ebiro, ng'obudde butuuse kaakano mmwe okuzuukuka mu tulo; kubanga kaakano obulokozi bwaffe buli kumpi okusinga we twakkiririza. #Is 45:23; 49:18, Baf 2:10,11 12Ekiro kiyise, obudde bunaatera okukya, kale twambule ebikolwa eby'ekizikiza, era twambale eby'okulwanyisa eby'omusana.#Bag 6:5 13Tutambulenga nga tuwoomye nga abali mu musana, si mu binyumu ne mu mbaga ez'okutamiiranga, si mu bwenzi n'obukaba, si mu kuyombanga n'obuggya. 14Naye mwambale Mukama waffe Yesu Kristo, so temutegekeranga mubiri, olw'okwegomba.#Bag 3:27

Currently Selected:

Abaruumi 13: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in