Abaruumi 11
11
Okusaasira kwa Katonda eri Isiraeri
1Kale mbuuza, Katonda yeegaana abantu be? Nedda! n'akatono. Nange kennyini ndi Muisiraeri, wa mu zzadde lya Ibulayimu, wa mu kika kya Benyamini.#Zab 94:14, 1 Sam 12:22, Yer 31:37, Baf 3:5 2Katonda tagaananga bantu be be yamanya edda. Oba temumanyi ebyawandiikibwa ku Eriya bwe byogera, ku ngeri gye yasaba Katonda ku Baisiraeri? #1 Bassek 19:10,14 3“Mukama, basse bannabbi bo, ne baazikiriza ebyoto byo, era nze nsigaddewo nzekka, era banoonya obulamu bwange.” 4Naye Katonda yamuddamu nti, “Nze nneekumidde abasajja kasanvu (7,000), abatafukaamiriranga Baali.”#1 Bassek 19:18 5Kale bwe kityo era ne mu biro bino waliwo ekitundu ekyafikkawo abaalondebwa olw'ekisa. #Bar 9:27 6Naye bwe kibanga lwa kisa, olwo kiba nti si lwa bikolwa; kuba olwo ekisa kiba tekikyali kisa nate. #Bag 3:18 7Kale tukole tutya? Isiraeri yalemwa okufuna kye yali anoonya, abaalondebwa baakiraba, ate abalala ne bakakanyazibwa, #Bar 9:31 8nga bwe kyawandiikibwa nti, “Katonda yabawa omwoyo ogw'okubongoota, amaaso ag'obutalaba, n'amatu ag'obutawulira, okutuusa ku lunaku lwa leero.”#Is 29:10, Ma 29:4 9Era Dawudi ayogera nti,
Emmeeza yaabwe ebafuukire akakunizo n'ekigu,
N'enkonge, n'empeera gyebali;#Zab 69:22,23; 35:8
10Amaaso gaabwe gasiikirizibwe obutalaba,
Era obakutamyenga emigongo gyabwe emirembe gyonna.
11Kambuuze, Baamala kwesittala ne balyoka bagwa? Nedda, nakatono. Naye olw'okwonoona kwabwe obulokozi kyebwava bujja eri ab'amawanga, aba Isiraeri bakwatibwe obuggya. #Ma 32:21, Bik 13:46, Bar 10:19 12Naye oba ng'okwonoona kwabwe kutegeeza bugagga bw'ansi, n'okulemwa kwabwe kutegeeza bugagga eri ab'amawanga; okutuukirira kwabwe tekulisinga nnyo?
Obulokozi bw'abamawanga
13Kaakano njogera nammwe ab'amawanga. Kale kubanga nze ndi mutume wa b'amawanga, ngulumiza okuweereza kwange, 14ndyoke nkwase Bayudaaya bannange obuggya, bwentyo ndokole abamu mu bo.#1 Tim 4:16 15Kuba oba ng'okuganibwa kwabwe kutegeeza kutabaganya ensi, okusembezebwa kwabwe kutegeeza ki, okuggyako obulamu okuva mu bafu? 16Era ebibala ebibereberye bwe biba ebitukuvu, era n'ekitole kiba kitukuvu; era ekikolo bwe kiba ekitukuvu, era n'amatabi gaba matukuvu.#Kubal 15:17-21 17Naye oba ng'amatabi agamu gaawogolebwako, naawe, eyali omuzeyituuni ogw'omu nsiko, n'osimbibwa mu kifo kyago, ogabane ku bugagga obw'omuzeyituuni;#Bef 2:11-19 18teweenyumiririzanga ku matabi ago. Bw'oba weenyumiriza, jjukira nti si ggwe owanirira ekikolo, naye ekikolo kye kiwanirira ggwe.#Yok 4:22 19Kale onooyogera nti, “Amatabi gaawogolwako nze nsobole okusimbibwako.” 20Weewaawo; gaawogolwako lwa butakkiriza, naawe onywedde lwa kukkiriza. Teweegulumizanga, naye tyanga.#Bar 12:16 21Kuba oba nga Katonda teyasaasira matabi ga buzaaliranwa, era naawe talikusaasira. 22Kale laba obulungi n'obukambwe bwa Katonda, eri abaagwa, bukambwe; naye eri ggwe bulungi bwa Katonda, bw'onoobeereranga mu bulungi bwe, naye bw'otoobeererenga mu bwo, naawe oliwogolwako.#Yok 15:2,4, Beb 3:14 23Era nabo, bwe bataaliremera mu butakkiriza bwabwe baliyungibwa ku kikolo, kubanga Katonda ayinza okubayungako nate.#2 Kol 3:16 24Kuba oba nga ggwe wawogolwa ku muzeyituuni ogwali ogw'omu nsiko mu buzaaliranwa, n'osimbibwa mu muzeyituuni omulungi obutagoberera buzaaliranwa, abo, ab'obuzaaliranwa, tebalisinga nnyo kusimbibwa mu muzeyituuni gwabwe bo?
Okusaasira kwa Katonda eri bonna
25Kubanga ssaagala mmwe, ab'oluganda, obutamanya kyama kino, mulemenga okubeera ab'amagezi mu maaso gammwe mwekka, ng'obukakanyavu bwabeera ku Baisiraeri, okutuusa ab'amawanga lwe balituuka ku kutuukirira kwonna; #Luk 21:14, Yok 10:16, Bar 12:16 26era bwe kityo Abaisiraeri bonna balirokoka, nga bwe kyawandiikibwa nti,
“Omununuzi aliva mu Sayuuni;
Aliggyawo obutatya Katonda mu Yakobo.”#Mat 23:39, Zab 14:7, Is 59:20; 27:9
27“Era eno ye ndagaano yange nabo,
bwe ndibaggyako ebibi byabwe.”#Yer 31:33,34, Is 27:9
28Okusinziira mu Njiri, be balabe ba Katonda ku lwammwe; naye okusinziira mu kulondebwa, baagalwa ku lwa bajjajjaabwe. 29Kubanga ebirabo n'okuyita kwa Katonda tebyejjusibwa. 30Era nga mmwe edda bwe mwali abajeemu eri Katonda, naye kaakati musaasiddwa olw'obujeemu bwabwe. 31Bwe batyo nabo kaakati bajeemu, balyoke basaasirwe nga mmwe bwe mwasaasirwa. 32Kubanga Katonda yasiba abantu bonna mu bujeemu, alyoke asaasire bonna.#Bag 3:22, 1 Tim 2:4
Okutendereza Katonda
33Obuziba bw'obugagga obw'amagezi n'obw'okumanya kwa Katonda tomanyi bwe buli! emisango gye nga tegikeberekeka, n'amakubo ge nga tegekkaanyizika!#Bar 9:23; 10:12, Is 45:15 34“Kubanga ani eyali ategedde ebirowoozo bya Mukama? Oba ani eyali amuwadde amagezi?”#Is 40:13, Yob 15:8, Yer 23:18, 1 Kol 2:6 35“Oba ani eyali amuwadde ekirabo alyoke amuddizewo?” 36Kubanga byonna biva gy'ali, era biyita gy'ali, era bituuka gy'ali. Ekitiibwa kibeerenga gy'ali emirembe gyonna. Amiina.
Currently Selected:
Abaruumi 11: LBR
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.