YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 96

96
Okutendereza obukulu bwa Katonda
(1 Byom 16:23-33)
1 # 1 Byom 16:23-33 Mumuyimbire Mukama oluyimba oluggya:
Mumuyimbire Mukama, mmwe ensi zonna.#Zab 33:3; 98:1
2Mumuyimbire Mukama,
mwebaze erinnya lye:
Mwolesenga obulokozi bwe buli lunaku buli lunaku.#Is 52:7
3Mubuulirenga ekitiibwa kye mu mawanga,
N'eby'amagero bye eri abantu bonna.
4Kubanga Mukama mukulu,
era agwana okutenderezebwa ennyo:
Agwana okutiibwanga okusinga bakatonda bonna.#Zab 48:1; 95:3
5Kubanga bakatonda bonna ab'amawanga bye bifaananyi:
Naye Mukama ye yakola eggulu.#Lub 1:1, Zab 115:4, Is 42:5, Yer 10:12, Kaab 2:18-20, Bik 19:26
6Ekitiibwa n'obukulu biri mu maaso ge:
Amaanyi n'obulungi biri mu watukuvu we.
7Mumutendereze Mukama, mmwe ebika byonna eby'amawanga,
Mumutendereze Mukama ow'ekitiibwa n'amaanyi.#Zab 22:27; 29:1,2; 114:7
8Mumuwe Mukama ekitiibwa ekigwanira erinnya lye:
Muleete ssaddaaka, mujje mu mpya ze.
9Kale mumusinze Mukama mu butukuvu bwe.
Mukankane mu maaso ge, mmwe ensi zonna!
10Mutegeeze amawanga gonna nti
Mukama afuga:
Era n'ensi enywera n'okuyinza n'eteyinza kusagaasagana:
Alisalira amawanga emisango mu bwenkanya.#Zab 9:8; 93:1
11Eggulu lisanyuke, era n'ensi ejaguze;
Ennyanja ewuume, n'okujjula kwayo;#Zab 69:34; 97:1; 98:7
12Ennimiro ejaguze, n'ebigirimu
byonna;
Emiti gyonna egy'omu kibira ne giryoka giyimba olw'essanyu;#Is 35:1; 55:12
13Mu maaso ga Mukama, kubanga ajja;
Kubanga ajja okusalira ensi emisango:
Alisalira ensi emisango mu bwenkanya,
Aliramula amawanga n'amazima ge.

Currently Selected:

Zabbuli 96: LBR

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for Zabbuli 96