Zabbuli 95
95
Okukoowoola abantu okusinza
1Mujje, tumuyimbire Mukama:#Zab 66:1; 89:26
Tumuyimbire n'eddoboozi ery'essanyu ejjinja ery'obulokozi bwaffe.
2Tujje mu maaso ge n'okwebaza,
Tumuyimbire n'eddoboozi ery'essanyu ne zabbuli.
3Kubanga Mukama ye Katonda omukulu,
Era Kabaka omukulu asinga
bakatonda bonna.#2 Byom 2:5, Zab 135:5
4Enkonko z'ensi ziri mu mukono gwe;
N'entikko z'ensozi nazo zizze.
5Ennyanja yiye, era yagikola;
N'emikono gye gye gyabumba olukalu.#Lub 1:9,10, Yon 1:9
6Mujje, tusinze, tuvuuname;
Tufukamire mu maaso ga Mukama Omutonzi waffe:#Ma 32:6, 2 Byom 6:13, Yob 35:10, Is 51:13, Dan 6:10, Luk 22:41
7 #
Beb 3:7-11
Kubanga ye Katonda waffe,
Naffe tuli bantu ba ttale lye,
era endiga ez'omu mukono gwe.
Leero, oba nga munaawulira eddoboozi lye,#Zab 48:14; 74:1
8Temukakanyaza mitima gyammwe, nga e Meriba,
Ku lunaku lwe baali e Masa mu ddungu:#Kuv 9:34; 17:2-7, Kubal 20:2-13, 1 Sam 6:6
9Bajjajjammwe bwe bankema, ne bangeza;
Newakubadde nga bali balabye omulimu gwange.#Zab 78:18, 1 Kol 10:9
10Emyaka ana (40) nanyiikaalira ab'emirembe giri,
Ne njogera nti Be bantu abakyama mu mutima gwabwe,
So tebaamanya makubo gange:#Kubal 14:33,34, Bik 13:18, Beb 3:17
11Kyennava ndayira mu busungu bwange,
Nga tebaliyingira mu kiwummulo kyange.#Ma 1:34,35; 12:9, Beb 3:18; 4:3,5
Currently Selected:
Zabbuli 95: LBR
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.