Zabbuli 94
94
Okusaba Katonda okulamula ababi
1Ayi Mukama, ggwe Katonda nannyini kuwalana,
Ggwe Katonda nannyini kuwalana,
omasizemasize ddala.#Ma 32:35, Is 35:4, Bar 12:19
2Yimuka, ggwe asalira ensi emisango:
Owe ab'amalala ebibagwanira.#Zab 7:6; 58:11
3Mukama, ababi balituusa wa,
Ababi balituusa wa okuwangula?#Yob 20:5, Kub 6:10
4Boogera ebitaliimu, n'eby'amalala:
Abakozi b'obubi bonna beenyumiriza:#1 Sam 2:3
5Bamenyaamenya abantu bo, Ayi Mukama,
Era babonyaabonya obusika bwo.#Is 3:15
6Batta nnamwandu ne munnaggwanga,
Era batta n'atalina kitaawe.#Is 10:2
7Ne boogera nti, “Mukama taabiraba,
So Katonda wa Yakobo taabirowooza.”#Yob 22:13
8Mutegeere, mmwe abali ng'ensolo mu bantu!
Nammwe abasirusiru, muligeziwala ddi?
9Eyateekawo okutu, ye tawulira?
Eyabumba eriiso, ye talaba?#Kuv 4:11, Nge 20:12
10Abonereza amawanga, talibakangavvula?
Ayigiriza abantu amagezi,
11Mukama amanyi ebirowoozo by'abantu,
nti biri nga mukka bukka.#1 Kol 3:20
12Alina omukisa omuntu gw'obonereza, Ayi Mukama,
Era gw'oyigiriza ebiva mu mateeka go;#Yob 5:17, Nge 3:11,12
13Olyoke omuwummuze aleme
okulaba ebiro eby'ennaku,
Okutuusa ababi lwe balisimirwa obunnya.#Yob 34:29
14Kubanga Mukama talisuula bantu be,
So talireka busika bwe.#Ma 32:9, 1 Sam 12:22, 1 Bassek 6:13, Bar 11:2
15Kubanga obwenkanya buliddira abatuukirivu,
Ne bonna abalina emitima egy'amazima balibugoberera.#1 Bassek 14:8
16Ani anaasituka antaase ku abo abakola obubi?
Ani anaayimirira amponye abakozi b'ebitali bya butuukirivu?
17Singa Mukama teyali mubeezi wange,
Emmeeme yange yandibadde yagenda dda mu nsi ey'okusirika.#Zab 124:1,2
18Bwe nnayogera nti Ekigere kyange kiseerera,
Okusaasira kwo, ggwe Mukama,
ne kumpanirira.
19Ebirowoozo by'omutima bwe biba nga bingi;
Okubudabuda kwo kusanyusa emmeeme yange.
20Abafuga ababi balissa ekimu naawe,
wadde abalagira eby'ettima mu mateeka?#Is 10:1, 2 Kol 6:14
21Bakuŋŋaana okulumba emmeeme y'omutuukirivu,
Ne basalira atalina musango okuttibwa.#Nge 17:15, Mat 27:4
22Naye Mukama yabanga kigo kyange ekiwanvu;
Era Katonda wange lye jjinja lye nneeyuna.#Zab 9:9; 14:6; 18:2
23Era alikomyawo ku bo obutali butuukirivu bwabwe bo,
Era alibazikiriza mu bubi bwabwe;
Mukama Katonda waffe alibazikiriza.#Zab 7:16
Currently Selected:
Zabbuli 94: LBR
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.