YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 93

93
Amaanyi n'obukulu bwa Mukama
1Mukama afuga; ayambadde obukulu:
Mukama ayambadde, yeesibye amaanyi:
Era ensi ennywedde n'okuyinza n'eteyinza kusagaasagana.#1 Byom 16:31, Zab 65:6; 96:10; 104:1, Is 51:9, Kub 19:6
2Entebe yo yanywera edda n'edda lyonna:
Obeererawo okuva emirembe n'emirembe.#Zab 45:6; 90:2
3Amazzi gayimusizza, Ayi Mukama,
Amazzi gayimusizza eddoboozi lyago;
Amazzi gayimusa amayengo gaago.#Zab 98:7,8, Kaab 3:10
4Okusinga amaloboozi ag'amazzi amangi,
Amayengo amanene ag'oku nnyanja,
Mukama ali waggulu asinza amaanyi.#Zab 65:6,7; 92:8
5Bye wategeeza bya mazima ddala:
Obutukuvu busaanira ennyumba yo,
Ayi Mukama, emirembe n'emirembe.#Zab 19:7; 29:2

Currently Selected:

Zabbuli 93: LBR

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for Zabbuli 93